Entegeka za Gavt.zikanze abattakisi

May 14, 2025

ABADDUKANYA takisi mu Uganda wansi w’ekibiina kya UTOF basabye minisita omubeezi ow’ebyantambula Fred Byamukama okusooka okuwulira endowooza zaabwe amanye n’engeri gye baddukanyaamu omulimu guno.

NewVision Reporter
@NewVision

ABADDUKANYA takisi mu Uganda wansi w’ekibiina kya UTOF basabye minisita omubeezi ow’ebyantambula Fred Byamukama okusooka okuwulira endowooza zaabwe amanye n’engeri gye baddukanyaamu omulimu guno.
Baagambye nti enkola Gavumenti gy’ereeta etangira omuntu ssekinnoomu okuddukanya omulimu guno okuggyako ng’ali mu SACCO bo nga abattakisi baakitandikako dda era buli siteegi eri wansi wa SACCO.
Ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi yagambye ebbanga lyonna baddereeva bawandiisibwa ku siteegi zaabwe, era bali mu SACCO.
Ssekindi okwogera bino kiddiridde minisita Byamukama okutegeeza ku Mmande enteekateeka empya Gavumenti gy’ereeta okulung’amya entambula y’emmotoka ez’olukale.
Minisita yategeezezza nti abattakisi bateekeddwa okwekolamu SACCO okusinziira ku luguudo kw’avugira era ewandiikibwe emabega ku mmotoka. Okugeza ssinga takisi eba evugira ku lw’e Masaka, emabega waayo walina okuwandiikibwayo nti; “Masaka Association” oba ekirala kyonna. Yagambye ekyo kyakuyambako okwanguyiza mu kulondoola emmotoka ne baddereeva ababa bakoze obubenje nga bamanya butereevu ekibiina mwe beegattira.
Wabula Ssekindi yagambye nti enkola eno wadde eri e Kenya n’e Rwanda naye wano eyinza obutakola kubanga e Kenya baddereeva baba bapakasi kuba mmotoka ze bavuga za bakulu mu Gavumenti ekitali wano kubanga takisi nnyingi bannannyini zo be bazivuga ate endala abazituwa okuzivuga tebakuweeramu mafuta nga baba baagala kubawa kasente kaabwe ak’olunaku oba wiiki oba omwezi.
Musitafa Mayambala, omumyuka wa ssentebe wa UTOF mu ggwanga yagambye nti omulimu gwabwe baaguteekateeka dda era byonna minisita by’ayogerako y’engeri gye baguddukanyaamu.
Yagambye nti buli mugoba wa takisi alina oluguudo olutongole lw’akolerako ng’ate alina ne SACCO mw’agwa. Asabye minisita ateekewo empuliziganya wakati we n’abattakisi kubanga bagyaniriza.
Mayambala yasabye nti nga minisita nga tannateeka by’ayagala mu nkola, Gavumenti yanditaddewo empuliziganya n’aba takisi kubanga be bategeera omulimu guno.
Charles Ssentongo, ssentebe wa siteegi ya Masaka mu Paaka Empya yagambye nti Gavumenti esooke etegeeragane n’aba takisi abali mu mulimu guno nga tennateeka kintu kyonna mu nkola.
Haji Majid Nsiko atwala takisi ezidda ebuvanjuba bwa Uganda yayanirizza enteekateeka eno kyokka n’asaba nti buli Gavumenti ky’eyagala okukola mu mulimu guno erina okukikwata mpola nga kiyita mu mitendera.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});