Bobi Wine yeekubidde enduulu mu mukago gwa Bulaaya
May 14, 2025
AKULIRA ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, yeekubidde enduulu mu mukago gwa Bulaaya ku bigenda mu maaso mu kisaawe ky’ebyobufuzi naddala mu kaseera ng’eggwanga lyolekera okukuba akalulu ka bonna omwaka ogujja.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, yeekubidde enduulu mu mukago gwa Bulaaya ku bigenda mu maaso mu kisaawe ky’ebyobufuzi naddala mu kaseera ng’eggwanga lyolekera okukuba akalulu ka bonna omwaka ogujja.
Eggulo, abakungu b’omukago guno nga bakulembeddwa agukulira mu Uganda, H.E Jan Sadek baakedde ku kitebe ky’ekibiina e Makerere Kavule ne beevumba akafubo akatakkiriziddwaamu Bannamawulire akaatutte akaseera.
Oluvannyuma lw’akafubo, akulira omukago guno, Sadek yategeezezza nti baasazeewo
bakung’aanye ebirowoozo okuva mu kibiina ekisinga obunene ku ludda oluvuganya mu ggwanga (NUP) okwongera okubaako bye batereeza naddala demukulasiya.
Yayongeddeko nti bagoberera bulungi nnyo ebifa mu Uganda naddala ebyobufuzi n’eddembe ly’obuntu era baanokoddeyo ebyali mu kalulu k’e Kawempe North akaalimu okutyoboola ssemateeka ekiyitiridde. Sadek era yavumiridde n’eky’okukwatibwa kw’abantu naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti mu ngeri etategeerekeka
n’agamba nti bagenda kufuba okulaba nti bino bikoma ng’eggwanga lyetegekera akalulu ka 2026.
Akulira NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yategeezezza nti ab’omukago baabaloopedde engeri eggwanga gye litambulamu naddala okukwatibwa kw’abali ku ludda oluvuganya gavumenti n’awa eky’okulabirako eky’omukuumi we Edward
Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe eyakwatibwa gye buvuddeko nga kati ali mu kkomera e Masaka. Kyagulanyi yababuulidde n’engeri eddembe ly’obuntu gye
lirinnyirirwamu n’abasaba batunuulire n’abantu abali mu kubonaabona awatali ayamba.
Ensisinkano yeetabiddwaamu abakiikirira amawanga amalala okuli; owa Bufalansa, Belgium,
No Comment