Poliisi ye Naggalama etaayizza ababbi b'Ente babiri ne babakuba amasasi
May 14, 2025
POLIISI y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ezingizza emmotoka ey’ebbeeyi ekika kya Toyota Prado TX, No. UAZ 797G. omubadde mutambulizibwa ente enzibe ne kubbako ababbi babiri amasaasi agabatiddewo.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ezingizza emmotoka ey’ebbeeyi ekika kya Toyota Prado TX, No. UAZ 797G. omubadde mutambulizibwa ente enzibe ne kubbako ababbi babiri amasaasi agabatiddewo.
Ekikwekweto kino kyakoleddwa mu kabuga k’e Nakasajja ku luguudo oluva mu Kalagi okudda e Gayaza ku Lwokusattu nga bukya poliisi mweyasuliza ababbi b’ente bano ababadde bazipakidde mu Prado TX nga kizibu omuntu okumanya nta yabadde etambuza nte.
Ente ezibadde zibbiddwa
Ente zino zibadde zakula ne ziwoola nga kuliiko eya kivuvvu ne myufu bbiri omuli ebidugavu.
Kigambibwa nti omuserikale wa poliisi y’e Naggalama eyabadde kukulawuna mu Kabuga k’e Kalagi ekiro ku ssaawa nga 9:00 yalabye mmotoka eno ekika kya Prado ng’etambula eringa eyetiise ennyo nagisuubiriza okubeera nga erina ebibbe byetambuza.
Omuserikale ono yasazeewo okuyimiriza mmotoka eno wabula negaana kwekusalawo okulemerako nagigoba ng’ali ne banne ne bagikwattira mu kabuga k’e Nakasajja okugenda okutunnula munda waayo nga yetisse ente sattu ekintu ekitakkirizibwamu mmotoka ya buyonjjo.
Wakati mu poliisi okugoba mmotoka eno abantu babiri abatebeerezebwa okuba ababbi b’e nte bafubutussemu ne badduka ate abalala babbiri poliisi n’ebakuba amasaasi agabatiddewo ne batwalibwa mu ggwanika lya KCCA e Mulago emirambo gyabwe gye gikuumirwa mu kiseera kino.
Poliisi mu kiseera kino ekola ekisoboka okulaba nga ezuula baani ababadde bannannyini nte zino gye bazibbye gattako okuzuula abafubutuse mu mmotoka ne badduka.
Gyo emirambo gy’abantu ababbiri abafudde n’okutuusa kati teginazuulibwako bigikwatako era nga gikyakuumirwa mu ggwanika lya KCCA e Mulago.
Emmotoka omubadde eny enzibe
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano ASP /Luke Owoyesigyire yasiimye omulimu aba poliisi y’e Nagalama gwe bakoze okubeera n’eriiso ejoogi gattako n’okuyimukkiraawo mu bwangu ne basuza ababbi bano omunyago.
Owoyesigyire yayongeddeko nti obubbi bwe nte okwettoloola eggwanga lyonna mu kiseera kino bulinye enkadago era nga kitebeerezebwa nti emmotoka eno y’emu kwezo abazibba mwe baabadde bazitambuliza okuzitwala mu butale
No Comment