Gavumenti erangiridde okuzza obuggya densite
May 15, 2025
EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kugaba densite ekya NIRA kirangiridde ntienteekateeka ey’okuwandiisa n’okuzza obuggya densite z’eggwanga yaakutandika nga May 27, 2025 okwetooloola eggwanga era yaakuwemmenta ssente ezisoba mu buwumbi 600.

NewVision Reporter
@NewVision
EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kugaba densite ekya NIRA kirangiridde nti
enteekateeka ey’okuwandiisa n’okuzza obuggya densite z’eggwanga yaakutandika nga May 27, 2025 okwetooloola eggwanga era yaakuwemmenta ssente ezisoba mu buwumbi 600.
Akulira ekitongole kino, Rosemary Kisembo bwe yabadde ayanjula enteekateeka eno eri
bannamawulire ku media center mu Kampala yategeezezza nti okuzza obuggya densite kwa bwereere, wabula abalina bye baagala okukyusa baakusasula emitwalo 20.
Yagambye nti densite yo bw’eba yabula naye nga yali yaggwaako tojja kusasuzibwa,
wabula weetaaga okugenda n’ebbaluwa ya poliisi ekakasa nti yabula. Enteekateeka eno
yaakumala wakati w’emyezi mukaaga ne kkumi nga yaakubeera ku miruka gyonna okwetooloola eggwanga. Abazza obuggya densite bajja kubeerangawo okuva mu Mmande okutuuka ku Lwomukaaga, buli wiiki. Abakulembeze b’oku bitundu
okuviira ddala ku bassentebe b’ebyalo bakwasiddwa obuvunaanyizibwa okufaayo
okutegeezanga abantu mu bitundu emiruka okuwandiisa we kuba kugenda
okubeera.
Mu kifo awagenda okuwandiisibwa wagenda kuba wategekeddwa bulungi era nga walambikiddwaawo ebifo gamba nga ekyabakadde, abakyala b’embuto n’abaana. Kyokka gwe alina yintaneeti oweereddwa amagezi okugyeyambisa okuteekamu okusaba
kwo okw’okuzza obuggya densite yo singa esangibwa nga yaggwaako, olwo ogende ku Muluka bakuggyeko ebinkumu. Kisembo yannyonnyodde nti ebikulu ebigenda okukolebwa kuliko okuzza obuggya densite singa eba yaggwaako n’okuwandiisa abatazifunangako, naddala abali wansi w’emyaka 18. Ku baweza emyaka 18 n’okweyongerayo, naye nga tofunanga ku densite bajja kusooka kukwekenneenya. Mu nteekateeka eno basuubira okuzza obuggya densite ezisoba mu bukadde 15 n’okuwandiisa abantu abapya abasoba mu bukadde 17. Aba NIRA bakubiriza abantu okwewala abakujjukujju abayinza okwagala okubasaba ssente nti babawandiise.
No Comment