Taata w'abaana yadduka ewaka lwa mukazi kumukuba miggo e Kayunga
May 16, 2025
Taata w'abaana attottodde engeri mukazi we gyeyegatta ne muwala wabwe omukulu ne bamuligita emigoba nte.

NewVision Reporter
@NewVision
Taata w'abaana attottodde engeri mukazi we gyeyegatta ne muwala wabwe omukulu ne bamuligita emigoba nte.
Taata w'abaana agamba nti kati awanise omukazi amulemye takyasobola kudda waka n'alangirira nti bwewabeerayo omusajja amwegwanyiza waddembe okumwetwalira.
Abafumbo bano abatuuze ku kyalo Kisombwa mu Kayunga town council kati batambuza omwaka gwa 31 mu bufumbo era nga bazadde abaana bataano nga asembayo obuto wa myaka 18.
Kati taata yasiba emigugu n'asegulira ekibabu n'agenda yepangisiza akazigo mw'asula ssi kulwa nga bamukkiriza ewa ssenkaaba.
David Nabyuma 53 agambye nti mukazi we Harriet Nabukeera takyamulabamu kaabuntu era amuyisa nga kya ku ttale kwatadde n'okumuyisangako ow'embuya nga talina musango.
Nabyuma yagenze ewa Collins Kafeero amuyambe ajjeyo ebintu bye omukazi byeyalemera era afune n'omugabo ku bibanja byeyatuuyanira atundeko poloti wakiri agende yeyiye.
Nabukeera agaanyi okutuula mu lukiiko n'asooka yekweka mu ffumbiro, oluvanyuma ne yefubitika enyumba balira gy'asinziira okuwerekereza ebigambo okulaba amaanyi gaalina mu maka gaabwe.
Omukazi abuuzizza Nabyuma lwaki ebyokumukuba abiraba kati n'agamba nti omusajja ono okinoba awagirwa nnyina kubanga nti ne nnyina Nabyuma yakanoba ewa bba kwekwagala awaganyaze ne mutabani we.
Collins Kafeero agambye nti ku nneeyisa omukazi gy'ayolesezza kyamagezi bano okusooka okwawunakanamu olw'okuziyiza okuyiwa omusaayi.
Abalagidde bagende mu ofiisi ku Monday baddemu okutuula okusobola okuwa Nabyuma obwenkanya ave mu muzigo wabula ssinga tebakkaanya ensonga wakuzongerayo mu kooti ebalamule.
Related Articles
No Comment