Katikkiro ayogedde ku birina okukolebwa okujjanjaba stress
May 16, 2025
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ensi ezikyakula zisaanye okufuna Engeri y'okugonjoolamu okutawanyizibwa kw'ebirowoozo mu bantu baazo.

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ensi ezikyakula zisaanye okufuna Engeri y'okugonjoolamu okutawanyizibwa kw'ebirowoozo mu bantu baazo.
Mayiga agamba nti abantu batawanyizibwa nnyo n'ebirowoozo ebireteebwa situleesi ku mirimu ne mu Maka nekibeera nti wetaagisawo enkola n'ebifo ebinayamba okuddabiriza abafunye okusomoozebwa okw'engeri eno.
Katikkiro Mayiga ng'aggulawo ekifo e Mazzi-Bugujju, Masuulita
Okwogera bino asinzidde ku kyalo Mazzi e Bugujju mu ggombolola ye Masuulita e Wakiso mu Busiro gyabadde ng'aggulawo ekifo ekiyitibwa Beauveis 'Buve' Retreat Center ekiwummulirwamu neyeebaza abatandisi b'ekifo olw'okwolesa obuyiiya.
Katikkiro Mayiga agambye nti okusinzira ensi bwetambula, abantu basaanye okukyusa enkola y'emirimu bwebanabeera bakukyusa n'okukulakulanya emirimu gyebakola.
" Bwennali nakafuuka Katikkiro naleeta enkola ey'omulembe Omuggya omuli obuyiiya,obunyikivu,obweruufu n'okukola obutawera. Kiyamba okulongoosa enkola y'emirimu era enkola byendabye wano erongoosa emirimu," Mayiga bwagambye.
Katikkiro Mayiga ng'asimba omuti mu kifo ekiyitibwa 'Buve' Retreat Center e Mazzi, Masuulita
Minisita w'abavubuka, emizannyo n'ebitone mu Buganda, Ssaalongo Robert Sserwanga yeebazizza Katikkiro Mayiga olwa bulijjo okuwagira emirimu egikolebwa abavubuka era abavubuka n'abasaba bulijjo okuwuliriza ebyo ebibeera bibagambiddwa.
Omumyuka owookubiri ow'Omwami w'essaza ly'e Busiro, Vicent Kayongo atendereza obuvumu bw'abatandisi b'ekifo kino kubanga buyambye okutondawo emirimu eri Bannabusiro bangi mu kitundu kino.
Javis Mugagga Lubwama, Omutandiisi w'ekifo kino yeebazizza Katikkiro Mayiga olw'okubeera omukulembeze ayagazisa baakulembera okukyusa obulamu bwaabwe.
Lubwama anyonyodde ebikolebwa mu kifo kino, ebikifuula eky'omugaso eri obulamu bw'omuntu okuli ebisenge awawummulirwa,awaaabirwa,ekibira n'ebirala.
No Comment