Engeri gye weetegekera obukoko obw’olunaku

May 19, 2025

NGA tonnaleeta bukoko ku ffaamu yo, weetaaga okwetegeka obulungi  okubulabirira obulungi kw’ossa okubukuumira mu mbeera entuufu obutabufiirwa.

NewVision Reporter
@NewVision

NGA tonnaleeta bukoko ku ffaamu yo, weetaaga okwetegeka obulungi  okubulabirira obulungi kw’ossa okubukuumira mu mbeera entuufu obutabufiirwa.
Ssaalongo Robert Sserwanga, omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo n’abavubuka agamba nti:
l Obukoko buno bw’oleeta tebulina maama, ng’oteekeddwa okukola byonna maama by’alina okubukolera naddala okubuwa ebbugumu n’okulya.
Jjukira nti, ekifo kino osobola okubeera nga wazimba ennyumba  ey’enjawulo oba okusala ekifo mu nnyumba yennyini mw’ogenda okukuliz enkoko zino.
Noolwekyo, nga tonnaba kuleeta nkoko, olina okuba nga wategese dda ekifo kino era
n’okiteekateeka n’ebyetaagisa byonna okukibeeramu waakiri essaawa 24 nga tebunnatuuka.
l Kikulu okukuuma obuyonjo mu buli ky’okola kuba obukoko buno bubeera bwa
kwegendereza obutabulwaza oba okubukozza olwo busobole okukula obulungi.
l Nga tonnaba kuleeta bukoko, kakasa nti, ennyumba ogissaamu ebbugumu waakiri essaawa 24 nga tebunnaba kutuuka, ate mu budde bw’obunnyogovu kikole mu ssaawa 48. Kino kiyamba ennyumba yonna okubeera ng’ebuguma bulungi. Jjukira, bbuluuda erina okubaamu ebbugumu lya 24 ku ttaka, obukuta okugendaokussibwa ekipapula nga bulimu ebbugumu lya 30, ate empewo ng’eri wakati wa 34-36.
Osobola okukozesa obupima  ebbugumu, ng’ennaku zino waliwo obufulumya akatangaala nga tooki nga w’okuba akatangaala we kakubuulira ebbugumu ririwo.
l Ng’obukoko tebunnajja, teekamu amazzi amayonjo agookunywa, nga muno ssaamu gulukosi ayambako okubuwa amaanyi n’okukkakkanya situleesi okuva mu kutambula
n’ebirala. Oluvannyuma lw’essaawa nga bbiri ossaamu emmere kyokka eno essibwa wansi ku bipapula kuba bubeera tebunnategeera kuliira mu biriirwamu.
l Engeri gy’ogenda okutambuza obukoko bwo okuva ku kkampuni okutuuka ku ffaamu
nkulu okwetegekera nga bukyali.Obukoko wandibadde obutambuza mu ngeri etebukooya, nga wano bw’obeera ogenda kuleeta bukoko, ky’obeera okola kyokka   obuwe obudde, mu kifo ky’okugamba nti, osooke obufune ate obeereko ebirala  by’omaliriza. Kino kibukooya era kiyinza okubuviirako okufa n’obutakula bulungi.  l Mu ngeri y’emu, obukoko  butambuze mu budde nga buweweevu  nga buno  bwandibadde bwa ku makya oba ekiro nga kiyamba okukendeeza ebbugumu
eriyinza okubuyisa obubi. Obukoko tebwanditutte ssaawa zisoba mu 48 nga  tebunnaba kulya oba waakiri okunywa amazzi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});