Paasita Patience asabye abantu okwekwata ku Katonda
May 22, 2025
OMUSUMBA Patience Rwabwogo Museveni asabye abantu okuwa Katonda obumenyefu bwabwe abawe ekitiibwa n’okuwummula.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSUMBA Patience Rwabwogo Museveni asabye abantu okuwa Katonda obumenyefu bwabwe abawe ekitiibwa n’okuwummula.
Patience Rwabwogo, omusumba w’ekkanisa Convenant of Nantions Church esangibwa e Gaba yabyogeredde mu lukung’aana olwatuumiddwa ‘Light up Uganda for Jesus’ lwe yategese ku kisaawe e Kololo ku Lwokubiri nga lwatandise ku Mmande okutuuka ku Lwomukaaga.
N’asaba abantu okwekwata ku Katonda kuba agenda kuggulawo amakomera mu byenfuna, mu maka n’ebirala. Yasabye abantu okuba n’okukkiriza nti, kuba bangi bagenda mu nkung’aana nga zino ez’enjiri nga balina ebizibu bazivaamu basumuluddwa.
Yeebazizza Katonda okuwa Uganda omukisa n’agamba nti, amawanga agamu bamusigansimbi baddukayo ne beeyunira Uganda kubanga eriko omukono gwa Katonda. Yagambye nti, okubuulira enjiri kyetaaga ssente nga ky’ekiseera ng’ekkanisa okukimanya kubanga zikola ebintu bingi omuli okuzimba amakolero n’ebirala ebiyambako okubunyisa ekigambo kya Katonda mu bantu. Omulamwa gw’olukung’aana luno gwaggyiddwa mu kitabo kya Yoswa 3:11:17, “Ekkanisa okulemberamu eggwanga yonna okusomoka”. Dokita Ladonna okuva mu America, ye mubuulizi omukulu mu
lukung’aana luno. Ate Pulezidenti Museveni y’asuubirwa okuluggalawo ku Lwomukaaga. Abamu ku baabuulidde kuliko Bishop Michael Lubowa owa Central Buganda eyasabye abantu okudda eri Katonda n’obutatabika byabufuzi na njiri. Ate John Mulinde ow’ekkanisa World Trumpet Sseguku ku Prayer Mountain yasabye abantu obutalwanyisa balala lwa byanfuna.
No Comment