Aba DP batadde ekifuba ku Mao n’aleeta poliisi
Jun 02, 2025
ABAVUGANYA Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamutaddeko ekifuba okulonda ne kusooka kuyiika nga entabwe eva ku ssentebe w’akakiiko akalondesa okuwandulamu omubaka Richard Ssebamala bwe babadde ku mbiranye.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
ABAVUGANYA Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamutaddeko ekifuba okulonda ne kusooka kuyiika nga entabwe eva ku ssentebe w’akakiiko akalondesa okuwandulamu omubaka Richard Ssebamala bwe babadde ku mbiranye.
Ku ssaawa 6.00 ez’ekiro ekyakeesezza ku Ssande, eyakulidde okulondesa Kennedy Mutenyo yalangiridde nti Richard Ssebamala tannaba kuweza myaka 10 mu kibiina era takkirizibwa kwesimbawo ku bwapulezidenti bwa kibiina.
Poliisi Ng'eyingiddewo Okutereeza Embeera.
Kino kyatabudde bammemba abaabadde bakkalidde mu kisenge nga balindiridde ssaawa yokka batandike okusuula akalulu. Mutenyo baamuwakanyizza okulonda ne kuyimirira , weema ne bagiddukamu buli kimu ne kiyimirira.
Abaserikale baayitiddwa okukkakkanya embeera era ku ssaawa 4.00 ez’oku makya eggulo yabadde agezaako okutegeka abalonzi n’okussaawo akakiiko akapya balondese, poliisi n’emulemesa. Kennedy Mutenyo oluvannyuma yakomyeewo n’akakiiko ke wakati mu kukuumibwa poliisi ne baddamu ne bakola entegeka empya.
Bazeemu ne bafulumya buli omu mu weema ne babasoma bupya wakati mu byokwerinda eby’amaanyi. Aba Ssebamala poliisi yabakkakkanyizza wakati mu kuwakanya enteekateeka eyabadde egenda mu maaso.
Okulonda kwali kutegekeddwa nga May 30 ku Sumer Hotel e Mbarara kyokka entalo ezibaddewo ku ludda lwa Ssebamala ze zivuddemu okukeereya okulonda. Mao yategeezezza nti DP ekyaliwo era egenda kubeerawo.
Ssebamala yalangiridde nti ye pulezidenti wa DP omutuufu wadde Mao agezezzaako okukyanga n’okufutyanka okulonda ne kukeerewa ssaako okuvaako entalo mu kulonda. Ssebamala baamugobye mu lwokaano kyokka abawagizi be ne balemerako.
Yayogedde gye bali n’abagamba nti byonna ebisalibwawo nga tebakkiriziddwa kuvuganya babiwakanye. Yagambye nti bateekwa okuwakanyiza buli kimu mu kisenge awalonderwa.
Ssebamala bwe yavuddemu, kwasigaddeko basatu ku bavuganya okuli Dr. Lulume Bayigga, Elia Alitia ne Mao.
Embiranye ku balwanyisa Mao yasajjuka ku Lwakusatu bwe yakulemberamu banne bwe bakkiriziganya n’abatwala ewa Gen. Salim Saleh ng’agamba nti bagenda kumutegeeza ku nsonga ya nkulaakulana abayambeko kyokka aba Ssebamala ne bakimussaako nti azzeemu okutunda DP mu NRM.
Ssebamala amaze ebbanga ng’alumiriza obukulembeze bwa DP okutwala ekibiina mu NRM ne bakola n’endagaano n’agamba nti bateekwa okumufulumya abaviire n’endagaano ekome awo.
No Comment