Nannyini ssomero alaajanidde aboobuyinza okumutaasa ku bbanka eyagala okutunda essomero lye ng'ate ye yagisasula

Jun 08, 2025

DDAYIREKITA eyeewola ssente mu bbanka ya Opportunity ku ttabi ly’e Kawempe ali mu kattu oluvannyuma lw’okwewola ssente mu bbanka kyokka n’azisasula nga kati bbanka eyagala kutwala ssomero lye nga wano awanjagidde bbanka enkulu okuyingira mu nsonga ze.

By Wasswa Ssentongo
Journalist @New Vision

DDAYIREKITA eyeewola ssente mu bbanka ya Opportunity ku ttabi ly’e Kawempe ali mu kattu oluvannyuma lw’okwewola ssente mu bbanka kyokka n’azisasula nga kati bbanka eyagala kutwala ssomero lye nga wano awanjagidde bbanka enkulu okuyingira mu nsonga ze.

Mubanda Nnannyini Ssomero Ng'asobeddwa.

Mubanda Nnannyini Ssomero Ng'asobeddwa.

William Mubanda 52, nga ye nnannyini ssomero lya Hellen White Bright future primary School erisangibwa mu Ssemuto town council mu disitulikiti y’e Nakaseke yali mu kattu oluvannyuma lw'essomero lye okwagala okutwalibwa aba bbanka ya opportunity nti bamubanja ssente akawumbi kamu kyokka nga ye agamba nti tebamubanja wabula okumubala omufuulo nga baagala okutwala emmaali ye.

Mubanda agambye nti yasooka kwewola obukadde 200 n’abusasula era n’addamu ne yeewola nga yali yaakasasulako obukadde 150 awo COVID we yajjira n’akoma okusasula ng’akaseera Covid we yaggweerako yagenda okudda mu bbanka nga bamwogeza okutuuka ku bukadde 573.

Mubanda Engeri Gye Yasasulamu Nga Ssente Ze Tebazisalako Mu Bbanka.

Mubanda Engeri Gye Yasasulamu Nga Ssente Ze Tebazisalako Mu Bbanka.

Mubanda agambye nti yatandika okusasula ssente zino naye nga ekyasinga okumwewuunyisa ze ssente okuzisasula kyokka nga tezeetoolako ekyamuwaliriza okugenda mu bbanka ate okwemulugunya ne bamugamba nga bwe bagenda okukitereeza.

Ono agambye nti mu kaseera nga abasaba okutereeza akaawunti ye ate baamusaba okumwongera ssente obukadde 800 nga wano yali agaanye naye olw'okuba yali akyalina obwetaavu bwa ssente n’akkiriza.

Yayongeddeko nti ekyasinga okumwewuunyisa ku bukadde 800 bwe yasaba ate baamuwa obukadde 60 nga wano yaddayo mu bbanka ya opportunity okwebuuza lwaki tebamuwadde ssente za'sabye nga bakkaanya kumutambuza n'okutuuka leero.

Ekiwandiiko Kya Bbanka Ekiraga Nga Bw'etunda Essomero.

Ekiwandiiko Kya Bbanka Ekiraga Nga Bw'etunda Essomero.

 Mubanda agambye nti ate ekyazzeeko kwe kumuwandiikira ebiwandiiko bibiri mu wiiki emu okumutegeeza nga bwe bamubanja akawumbi kamu ate ekirala nga kimutegeeza nga bwe bamubanja obukadde 800 kyokka naye n’asoberwa.

Yagambye nti agezezzaako okutuukirra aba bbanka eno nga beebuzaabuza n'empapula kwe yasasuliranga ssente kyokka ne bagaana okusala ebbanja lyabwe.

 

Wano w’asinzidde n’asaba bbanka enkulu okuyingira mu nsonga ze era n’asaba abantu okwegendereza bbanka ynti kuba baamubala omufuulo nga kati ali mu kwejjusa ekyamutwalayo.

Wabula mu kwogerako n’akulira eby'okugaba looni mu opportunity bbanka Michela Omara, ayanukudde Mubanda n’amusaba okugenda mu bbanka batuule balabe ensobi wa gye yava.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});