Nyanzi alabudde abavubuka abaweereddwa kkaadi ya NUP obutalya mu kibiina lukwe
Jun 11, 2025
SSAABAKUNZI wa NUP, Fred Nyanzi alabudde abavubuka abaweereddwa kaadi y’ekibiina okuvuganya ku bifo by’abavubuka mu kolonda kw’abavubuka obutalya mu kibiina lukwe nga babasendasenda n’obusente obuyinza okubaggyaku mulamwa ne bava mu lwokaano ng’abamu bwebadde bakola ku ssaawa esembayo.
By Patrick Kibirango
Journalist @New Vision
SSAABAKUNZI wa NUP, Fred Nyanzi alabudde abavubuka abaweereddwa kaadi y’ekibiina okuvuganya ku bifo by’abavubuka mu kolonda kw’abavubuka obutalya mu kibiina lukwe nga babasendasenda n’obusente obuyinza okubaggyaku mulamwa ne bava mu lwokaano ng’abamu bwebadde bakola ku ssaawa esembayo.
Nyanzi ng'ayogera.
Bino yabyogeredde Kasubi abakulembeze ba NUP mu Lubaga North nga bakulembeddwamu omubaka w’ekitundu Abubaker Kawalya bwe baabadde batongoza enteekateeka ey’okulaba nga beenyweza mu kalulu k’abavubuka akabindabinda we baatongolezza kye baayise Lubaga North Youth Umbrella Campaign.
Nyanzi agamba nti akalulu k’abavubuka kakulu nnyo nga y’ensonga lwaki abavubuka abaweereddwa obuvunaanyizibwa okwesimbawo ku lw’ekibiina basaanye okukitwala nga kya nsonga n’ategeeza nti ne bwe baabatwala mu kkooti ng’ekibiina kya NUP bwe waaliwo abaali baagala kisazibwemu, emu ku nsonga eyabayamba kwali kubanga akalulu k’abavubuka kaali kawedde okulondebwa ate nga bangi baali bawangulidde ku kaadi ya NUP.
Kawalya yabakubiriza okubeera abavumu ku buvunaanyizibwa obubaweereddwa n’ateegeeza nti batunuulidde okuwangula ebifo by’abavubukka okuva ku byalo okutuuka mu palamenti kye batuumye umbrella campaign.
Omukolo gwetabiddwaako meeya wa Lubaga, Zacchy Mawula Mberaze, sipiika Zahara Luyirika n’abalala.
No Comment