Eyali omumyuka wa Pokino azze ku ky’omubaka mukyala ow’ekibuga Masaka
Jun 11, 2025
EYALIKO omumyuka w’omwami wa Kabaka akulira essaza ly’e Buddu azizzaayo empapula ze eri akakiiko k’ekibiina kya NUP ak’eby’okulonda n’awaga.
By Musasi Waffe
Journalist @New Vision
EYALIKO omumyuka w’omwami wa Kabaka akulira essaza ly’e Buddu azizzaayo empapula ze eri akakiiko k’ekibiina kya NUP ak’eby’okulonda n’awaga.
Rose Nalubowa Musajjaakaawa eyaliko omumyuka wa pokino ye yazizzaayo ebbaluwa n’okuwaayo empapula ze ez’obuyigirize eri akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya NUP ku kifo ky’omubaka omukyala ow’ekibuga Masaka.
Nalubowa yategeezezza nti kye kiseera okulaba ng’ ayongera okusitula eddoboozi ly’ekibuga Masaka ng’akola emirimu egyo omubaka wa palamenti gy’asaanidde okukola okuli okubaga amateeka, okulondoola ebikolebwa gavumenti n’okulaba nga Bannamasaka bagabana kyenkanyi ku keeki y’eggwanga.
Nalubowa yavumiridde ebikolwa bya bakuumaddembe eby’okulumba ekitebe kya NUP ne bakuba amasasi bwe baabadde bagobagana n’abavubuka ba NUP.
Eyali omubaka wa Palamenti owa Makindye Ssaabagabo Emmanuel Sempala Kigozi Ssajjalyabeene naye yawaddeyo empapula ze ng’ayagala Kaadi ya NUP okuvuganya ku kifo kya Ssentebe wa LC5 e Wakiso. Kaadi agivuganyaako ne Nasif Najja n’abalala.
No Comment