Abakuristaayo ba Lutikko y’e Namirembe basiimye emirimu emirungi eyali diini wa Lutikko eno Canon Jonahan Kisawuzi Ssalongo nemukyalawe Maama Ruth Kisawuzi gyebakoledde Lutikko eno, n’Ekkanisa yonna, emyaka egyisukka 35 gy’ebamaze mubuweereza,
okusaba
Diini aliko, Canon Dunstan Kiwanuka Mazinga y’ategeezezza nti Canon Jonathan Kisawuzi ne Maama Ruth Kisawuzi baweerezza bulungi Ekkanisa, n;amaanyi, n’okwagala, ate ngatewali nziro eboogerwako, , era nga y’ensonga lwaki Abakuristaayo ba Lutikko baasazeewo okubasiima mu ngeri ey;enjawulo. Y’ebazizza olukiiko olwateekebwawo okukola kunsonga y’ekirabo, olubadde lukulemberwa Timothy Mabiriizi nemukyala Esther Nsibambi olw’okuggusa obulungi obuvunaanyizibwa obwalukwasibwa, nebasobola okugulira Canon Kisawuzi ne Maama mmotoka ensajja ey’ekika kya Ford Ranger Limited Double Cabin.
Mmotoka eno olukiiko lwajikwasizza Canon Kisawuzi ne Maama mukusaba okw’okussa ekimu okwabadde mu Lutikko e Namiembe ku Ssande nga June 22, 2025.
Canon Kisawuzi ne Maama Kisawuzi baasiimye nnyo Abakuristaayo olw’okusima obuweereza bwabwe.
Bino byonna ngatebinnabaawo, Canon Kisawuzi y’asoose kubuulira mukusaba, era nga essira y’alitadde ku kisa kya Yesu, okwagala kwa Katonda, n’okussa ekimu okw’Omwoyo Omutukuvu. Y’asabye Abakuristaayo okufuba okulaba ngabateeka mu nkola etteeka ery’okwagala. Yennyamidde olw’Abakuristaayo abamu, ababeera mu Kkanisa, kyokka nga emitima gyabwe jijjudde enge, obukyayi, effutwa, obuyagaliza, omulugube, n’ampisa embi endala. Y’ategeezezza nti omuntu atalina kwagala tasobola kumanya Katonda, era aba wa Sitaani.
“Tuteekeddwa okutambula ng’Abakuristayo abalina ekifaananyi kya Katonda. Okussa ekimu bulijjo kwetuyimba tukyakulina? Tukkaanya bwetuba tutudde ng’Abakuristaayo? Entalo n’okuyomba bivaawa? Okwagala kugenda nabikolwa. Tusooke tunoonye Obwakabaka bwa Katonda, ebirala byonna biritwongerwako,” Canon Kisawuzi bweyategeezezza.
Y’atenderezza enkwatagana Abakuristaayo ba Lutikko y’e Namirembe gyebataddewo n’e Bannauganda abali e Bungereza, ne America, ngabakozesa emikutu gyimugatta bantu. Y’ategeezezza nti bwabadde e Bungereza nemukyalawe gyebuvuddeko, abadde agenda neyeetaba mukusaba mu kkanisa ezoogera Oluganda, era nga Bannauganda abasabirayo basanyufu nnyo kubanga buli kiba kigenda mu maaso e Namirembe bakiraba ku mitimbagano, ekibayambye n’okutumbula omutindo gw’okuyimba era nga kati n’Abazungu okusaba kwabwe okw’olw’eggulo kwebaagala okubeeramu.
Okusaba kwabaddemu abaawule abawerako, okwabadde Viika wa Lutikko Rev Emmanuel Lutaaya, Rev Joseph Luvumu, Rev Samuel Magumba, ne Rev Stephen Lumu Lwasi (akulira ekitongole ky’okubuulira Enjiri), n’abalala.
Omukolo gwetabiddwako n’omukubiriza wa Lutikko, Munnamateeka Frederick Mpanga, Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Ow’ekitiibwa Patrick Luwaga Mugumbule, ne Ssabalamuzi wa Uganda eyawummula, Samuel Wako Wambuzi.