Eyagenda okukuba ekyeyo n'azibirayo amaaso awanjagidde Gavumenti okumuyamba alongoosebwe

OMUWALA eyagenda okukuba ekyeyo mu gwanga lya Jordan n’akomawo ng’azibye amaaso awanjagidde Gavumenti okumuyamba asobole okuddamu okulaba.

Eyagenda okukuba ekyeyo n'azibirayo amaaso awanjagidde Gavumenti okumuyamba alongoosebwe
By Wasswa Ssentongo
Journalists @New Vision
#Jordan #Mbabazi #Faridah Nekesa

OMUWALA eyagenda okukuba ekyeyo mu gwanga lya Jordan n’akomawo ng’azibye amaaso awanjagidde Gavumenti okumuyamba asobole okuddamu okulaba.

Ono agamba nti embeera eri ewaka nzibu ddala nga n’omuntu eyabayamba n’ababudaabuda abeefuulidde ayagala kubagoba mu nnyumba kyokka tebamanyi kiki kye bagenda kuzzaako.

AKazigo mwe babeera bwe baagala okubagoba.

AKazigo mwe babeera bwe baagala okubagoba.

faridah Nekesa 34, nga mu kaseera kano abeera ku kyalo Kirinyabigo ekisangibwa mu diviizoni y’e Nabweru mu Nansana munisipaali abeera ne maama we Mastullah Mababazi wabula nga ekifo we babeera omu ku booluganda ye yakibawa naye kati ayagala baveewo.

Nekesa agambye nti yali abeera Iganga n’afuna abantu abamupangira okugenda e Jordan okukuba ekyeyo naye kye yakola.

Agambye nti yali yaakatambulako emyezi 11 omutwe ne gumuluma nga wano bw eyasalawo okwebaka yagenda okuzuukuka nga amaaso takyalaba nga bakama be baali basooka kulowooza nti alimba okutuuka bwe baamwetegereza.

 

 Abasawo gye baamutwala baamugamba nti okukola ennyo kyekimulumisizza omutwe. Agambye nti bakama be baakubira abazadde be essimu oluvannyuma lwa kkampuni eyamutwala okubakubira essimu nga teziriiko era ne bamukolera ku byentambula n’adda mu Uganda.

Amalwaliro gonna agatambuddemu kyokka yafundikidde bamugambye nti balina kumutwala India  okusobola okulongoosebwa.

Mbabazi maama wa Nekesa awanjagidde abazirakisa okubadduukirira kuba muwala we ye yali abalabirira ate nga naye agambye nti obulamu si bwamulembe. Essimu yaabwe eri 0752893724.