NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda asabidde abaana mu Uganda n’essaala eri omutonzi abayambe okwagala ennono,obuwangwa n’ennimi zaabwe.
Maama Nnaabagereka ng'agaba ce rtificate
Essaala eno, Nnaabagereka yagisabidde ku mukolo kweyaggaliddewo Ekisaakaate Kya Nnaabagereka ekyabumbujjidde ku Kabojja International School e Buziga mu Divizooni y’e Makindye mu Kampala ku lwomukaaga.
“Ayi Mukama ow’ekisa ekingi, tukwebaza olw’abaana bano abazze mu kisaakaate kya Nnaabagereka ku mbuga ekubiddwa wano ku Kabojja International School. Tusaba ayi mukama buli mwana omuwe omukisa, buli mwana omwongere amagezi n’okutegeera n’okumanya,” Nnaabagereka bweyasabye.
Yayongedde n’asaba nti “Abaana bano baagale nnyo obuwangwa bwaabwe, ennimi zaabwe. Mukama tukusaba abaana bano oboongere okubagumya emitima gyaabwe era nga tusaba nti bajja kwongera okutegeera gyebava. Beyagale nga bbo gyebava naye ate era bwebakola bwebatyo, babeera baagala n’abantu bonna bewatonda mu nsi yo.”
Maama Nnaabagereka ng'alin'abaana
Nnaabagereka agamba nti abazadde b'omulembe guno balina okubeerako kyebakola okulaba ng'abaana bakuzibwa mu nnono n'obuwangwa bwaabwe, bakule ng'abantu abajjudde.
Nnaabagereka era yasinzidde wano neyeebaza abazadde olw'okukkiriza ne bamukwasa abaana baabwe bayisibwe mu nteekateeka eno ate n'asiima ab'essomero lye Kabojja olw'okusalawo okubakyaaza n'emyaka egijja mu maaso.
Minisita w'enkulakulana y'abantu ba Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka, Coltilda Nakate Kikomeko asabye abaana bano okutwala eby'enjigiriza ng'ensonga ate n'okukozesanga buli mukisa ogubasala mu maaso nga bavubuka.
Maama Nnaabagereka ng'ali n'abasakaate
Ye Dayirekita w'essomero lino, Hajj Ahmed Lwasa yalaze essanyu olw'okwegatta ku Nnaabagereka okugunjula abaana b'eggwanga bwatyo n'asaba abazadde obutasubwa mukisa guno.
Abaana abakoze obulungi bawereddwa Engule, emidaali n'ebirabo ebirala okubazaamu amaanyi.
Sonia Nakalungi Kawooya ye yasinze mu baana abawala n'addirirwa Nekesa Annabelle Okwenje. Aggrey Wunyi Jr okuva e Busoga yeyasinze mu balenzi n'addirirwa Patrick Mukiibi.
Abasakaate nga boolesa byebasomye mu kisakaate
Talitha Tyra Nakibuuka Kasenge yeyasinze okubeera omwana awa essuubi n'addirirwa Aleena Mulema Kirabo nga bawereddwa ebitabo omuli ebyafayo bya Nnaabagereka n'ebikwata ku buntubulamu.
Ella Destinee Batuusa yeyabadde Omusaakaate omuto ate Enju ya Butikkiro yawereddwa emidaali