OMWOGEZI wa minisiture y'ensonga z'omunda Simon Mondeyi alambuludde ku mitendera Abanyarwanda gyebalina okuyitamu okufuna obutuuze mu Uganda.
Bino abyogeredde mu lukung'aana lwa banamawuliire olutude ku kitebe Kya Poliisi e Naguru. Agamba nti omukulembeze w'eggwanga yagaanye omuntu yenna okufuna obutuuze bwa mirundi ebiri ne nsi ezituliraanye.
Agamba nti omuntu yenna alina passport ye nsi endala tagenda kuddamu kufuna passport ya Uganda. Asabye Bannayuganda abaagala okufuna Visa za America balins okuleeta ebiwandiiko ebitufu. Abalabudde nti bwebabeera bafunye visa tebalina kusuka mu budde obubaweeredwa.