ABAVUBUKA ba UYD bawadde nsalessale akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulonda mu ggwanga wa wiiki emu okulaba ng’okwemulugunya kwabwe ku mivuyo egyali mu ttabamiruka wa DP e Mbarara kuddiddwamu.
Bano nga bakulembeddwamu Pulezident wabwe Micheal Mpunge baagambye nti basazeewo okubajjukiza ku nsonga ze bazzenga babawandiikira okumala kati emyezi esatu nga beebulankanya tebaddibwamu.
Bwe twagenda e Mbarara, twetaba mu ttabamiruka ne wabaawo ebitaatambula bulungi nga tulowooza nti bimenya amateeka g’ebyokulonda wamu n’ekibiina ne tusalawo okubawandiikira bino okubiddamu n’okubisalira amagezi, Mpunge bwe yagambye.
Ebimu ku bye beemulugunyaako bigamba nti, ttabamiruka ono okulonda tekwali mu mateeka gafuga bibiina byabufuzi na ggwanga.
Abakulu mu kibiina kyabwe ekya DP tebakkiriza buli muntu ku keetabamu bulungi, abaali beesimbyewo tebakkirizibwanga kwekenneenya bubookisi bwa bululu n’okukebera nkalala.
Aba UYD nga bawanda omuliro
Abesimbawo tebakkirizibwa kukebera bungi bwa bululu n’obulambe bwabwe, omuwendo gw’abalina okulonda tegwamanyibwako kye bagamba nti tekyali mu nkola ya dimokulaasiya ssaako okumenya amateeka.
Mpunge agamba nti n’obulu olwamala okukubibwa ate ne butwalibwa mu kisenge gye bwabalibwa mu nzikiza kyokka n’abeesolossa ne balingizaayo baakubwa mizibu. Eno agamba waaliyo okubbibwa kw’obululu.
Yennyamidde nti ab’ebyokwerinda era beefuga ttaabamiruka waabwe ekyaleetera okutaataganya okulonda kyokka ne bwe beekubira enduulu mu kakiiko k’ebyokulonda beefuula kyesirikidde.
Ismail Kirya abadde pulezidenti wa UYD eyeesimbawo ku kya ssaabawandiisi wa DP n’atawangula yagambye nti, beemugulunya mu kakiiko k’ebyokulonda olw’okuba ke kalabaalaba k’ebyokulonda mu ggwanga naye kalemereddwa okutunula mu kwemulugunya kwabwe.
Eyali omuyambi wa Pulezidenti wa DP Norbert Mao, Anthony Waddimba yabotodde ekyama ku bimu ku byamuleetera okulekulira ekifo n’agamba nti kyava ku bakulembeze ab’owaggulu okusukka okukanda bakazi baabwe omukwano.
Yategeezezza nti kumpi buli mukazi gwe baayisaamu mu kalulu baamala kumusuubiza kifo kinene mu NEC. Yennyamidde nti oluvannyuma lw’okutwala bakazi baabwe ate bamanyiirwa ebitagambika n’okubalengezza olw’okuba bbo tebalina buyinza. Waddimba agamba nti abakulu baafuuka nnamunswa balya ku nswa zaabwe.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga Julius Mucunguzi, yategeezezza nti, kituufu abavubuka abo baaleeta okwemulugunya kwabwe mu biwandiiko nga bagamba waaliwo ebitagenda bulungi mu kulonda kwe baalina e Mbarara.
Mucugunzi agamaba nti, akakakiiko k’ebyokulonda kabeera bulindaala okufuna okwemulugunya kwonna okukwata ku by’okulonda era ensonga ezimu kaziyitamu ne kazimaliriza mu bwangu kyokka endala ziba zeetaagisa okusooka okunoonyerezaako.
Ngenda kubuuza ssentebe w’akakiiko okumanya wa we batuuse ku nsonga zaabwe naye ate waliwo ekkubo eddala mu mateeka ng’omuntu yenna bw’aba alina okwemulugunya kwonna mu by’okulonda, asobola okuddukira mu kkooti naddala singa aba alina obujulizi obukakasa ng’abavubuka bano basola nayo okutwalayo okwemulugunya kwabwe. Mucunguzi bwe yategeezezza.
Ekya nsalessale abawabudde obutakyetantala olw’okuba balina emitendera mingi mwe basobola okuyitira okutuusa okwemulugunya kwabwe.