ABATUUZE mu Nakawa balaze obutali bumativu olw’eddagala ettono n’ebikozesebwa eby’ebbula ebiri mu malwaliro ga gavumenti agamu kyebagamba nti kiviiriddeko abantu abasinga okuwangaala ennyo n’endwadde.
Embeera eno ebawalirizza okuwanjagira gavumenti eveeyo ebayambeko ku bizibu bino kubanga bibaviirako endwadde ezibaluma okusajjuka ekintu eky’obulabe gyebali olw’okubulwa obujanjabi mu budde.
Suzan Namakula asinzidde mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa e Nakawa ku ddwaliro lya The Aga Khan Hospital -Nakawa Specialist Centre webaweredde abantu abasoba mu 300 obujanjabi ku bwereere n’ategeeza nga bwebakyalina obuzibu obunene olw’eddagala etttono eriri mu malwaliro ga gavumenti kyokka nga ate omuwendo gw’abalwadde gweyongera buli olukya.
Du 7
Ategezezza nga bwebalumbibwa endwadde nebaddukira mu malwaliro kyokka eky’ennaku oluvannyuma lw’okukeberwa nebazuulwamu endwadde ate edagala teribeerawo nga kino kibawaliriza okuliteekamu sente okulifuna ekintu ekibakosa.
Asabye gavumenti okuvaayo eyongere obuvujjirizi mu malwaliro gayo kibasobozese okufunga obujanjabi obujjuuvu.
Dr. Dianah Namubiru akulira amalwaliro ga Aga Khan mu Uganda alaze obwennyamivu olw’abalwadde abamu abagayaalirira endwadde nebatuuka okugenda mu malwaliro nga baweddeyo n’ategeeza nti kino kikyamu kubanga kiviirako abalwadde okulwawo okutereera.
Asabye abantu bonna bulijjo okufaayo okwekebezanga endwadde naddala ezo ezitasiigibwa omuli sukaali ne puleesa mu bwangu kubanga bwebazuulwa nga bukyali bafuna obujanjabi mu budde.
Mmeeya wa Nakawa Paul Mugambe nga naye yetabye mu lusiisira luno asabye gavumenti eyongere amaanyi mu kutuusa eddagala mu malwaliro wamu obujanjabi ku byalo kubanga abantu abasinga batya okugenda mu malwaliro era.