Don Chris yafeza abantu akawumbi kamu n'obukadde bina (1.4bn)

Bannayuganda 350 baloopye Christian Asimwe amanyidwa nga Don Chris nanyini Skypin ku kitebe kye nsonga z'omunda olw'okubafera ensimbi z'okubatwala ku kyeyo.

Omwogezi wa Minisitule y'ensonga z'omunda ng'annyonnyola
By Sulaiman Mutebi
Journalists @New Vision

Bannayuganda 350 baloopye Christian Asimwe amanyidwa nga Don Chris nanyini Skypin ku kitebe kye nsonga z'omunda olw'okubafera ensimbi z'okubatwala ku kyeyo.

Mundeyi agamba nti sente ze yafera ziweze 1.4bn nga mu kiseera kino Don Chris yafuluma eggwanga mu nga yitanku nsalo ze Malaba.

Mudenyi asabye Don Chris okuvaayo ajje annyonnyole  oluda lwe. Mundeyi alabudde banayuganda obutamala gawa sente zaabwe ku muntu yenna okubakolera ku nsonga z'okugenda ebweru.