NIRA efulumizza endaga muntu emitwalo 10 ku baasaba okuzizza obuggya

AB’EKITONGOLE kya NIRA , wiiki ewedde, baatandise okugaba endagamuntu empya eri abazze bazisaba mu kuzizza obuggya.

NIRA efulumizza endaga muntu emitwalo 10 ku baasaba okuzizza obuggya
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#NIRA #Kigobero #Amawulire #Kuzza buggya

AB’EKITONGOLE kya NIRA , wiiki ewedde, baatandise okugaba endagamuntu empya eri abazze bazisaba mu kuzizza obuggya.

Endagamuntu 100,000 ze zaakubiddwa n'okufulumizibwa okutwalibwa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo, okuzigabira abantu.

Registrar akulira eby'endagamuntu mu kitongole kino,  Clarie  Ollama, agambye nti  omuntu yenna amaze okuwandiikibwa, alina okufuna obubaka ku ssimu ye, nga bamutegeeza ddi lw'agenda okufuna endagamuntu ye n'ekifo, w'alina okugifunira.

Agumizza Bannayuganda abali ebweru, nti bakolagana ne Embassy ez'enjawulo, okulaba ng'obuweereza buno, bubatuukako n'agattako nti bagenda kutandikira mu UAE ne Qatar okutandika n'omwezi ogujja.