Dr. Bernard Ogwel asimbudde abagenda okwetaba mu mizannyo gy'amasomero mu Algeria

SSABAWANDIISI w'akakiiko kemizannyo mu ggwanga Dr. Bernard Ogwel asiibudde ekibinja Kyabantu 87 okuli abazannyi n'abakungu okugenda mu ggwanga lya Algeria okukiikirira Uganda mu mizannyo gy'amasomero egigenda okuyindira mu bibuga ebyenjawulo.  

Dr. Bernard Ogwel ng'asiibula abazannyi
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

SSABAWANDIISI w'akakiiko kemizannyo mu ggwanga Dr. Bernard Ogwel asiibudde ekibinja Kyabantu 87 okuli abazannyi n'abakungu okugenda mu ggwanga lya Algeria okukiikirira Uganda mu mizannyo gy'amasomero egigenda okuyindira mu bibuga ebyenjawulo.

Uganda egenda kwetaba mu mizannyo munaana okuli emisinde, omupiira, okuwuga, Tennis wokumeeza, badminton n'ensero eya 3X3.
 
Lydia Dhamuzungu agenda okukulemberamu ekibinja Kya Uganda atenderezza amasomero agasobodde okukiikirira Uganda olw'okuwa Abayizi abebitone sikaala explosions ekiyambye my kutumbuula ebyemizannyo mu ggwanga.
 
 
Bwabadde asiibula abazanyi bano, ssaabawandiisi wakakiiko kebyemizannyo mu ggwanga Dr Bernard Ogwel alabudde bannabyamizannyo okweyisa mungeri eweesa eggwanga ekitiibwa.
 
“ Tubasindise kukiikirira ggwanga mu byamizannyo ssi kuzza misango.
Ogwel asuubizza amasomero gobwananyini okubatuusa ku bekikwatako mu gavumenti okubalwasizaako ku project zebyemizannyo zebalina nga bwegwali ku university ye Ndejje.
 
Emizannyo gitandika nga ennaku zomwezi 26 omwezi guno gikomekkerezebwe nga 5 omwezi ogujja.
Abawanguzi mu mpaka zino baakukiirira Uganda mu mizannyo gya Olympics egyabavubuka egyokubeera mu kibuga Dakar ekya Senegal omwaka ogujja.