Emmundu abatemu ze bakozesa zisattiza abatuuze

EKIKA ky’emmundu ez’omulembe ezitandise okukozesebwa ababbi n’abatemu abateega n’okulondoola abasuubuzi mu Kampala n’ebitundu by’e Masaka kitadde abeebyokwerinda ku bunkenke.

Ekyuma kya Mazima Bugagga.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKIKA ky’emmundu ez’omulembe ezitandise okukozesebwa ababbi n’abatemu abateega n’okulondoola abasuubuzi mu Kampala n’ebitundu by’e Masaka kitadde abeebyokwerinda ku bunkenke.
Emmundu ze bakozesa za mutawaana nnyo era za mulembe okusinga ezibaddewo ze babadde bakozesa okuli AK-47 n’endala.

Omugagga Lubega nnannyini kyuma ky’emmwaanyi.

Omugagga Lubega nnannyini kyuma ky’emmwaanyi.


Ku Lwokubiri akawungeezi ababbi bataano abaabadde n’emmundu baasazeeko Andrew Kaggwa, maneja wa kkampuni ya Mazima Bugagga ey’omugagga Ronald Lubega egula n’okutunda emmwaanyi e Kyotera ne bamuteeka ku mudumu gw’emmundu ne bamunyagako obukadde 50 nga yaakava mu bbanka e Kyotera.
Kiteeberezebwa nti ababbi, Kaggwa baamulondodde kuva ku bbanka ne bategeera n’omuwendo gwa ssente ze yabadde aggyeeyo era agamba yabadde yaakatuuka e Kifuuta ku kkampuni ng’agguddewo bbuutu y’emmotoka aggyemu ssente ababbi babiri we baamusaliddeko.
Okusinziira ku nsonda mu beebyokwerinda, ababbi baakozesezza ekika ky’emmundu SAR 15T. Emmundu eno, nkola mpya nnyo, y’ekozesebwa ekitongole kya poliisi ekikuuma abakungu n’okulwanyisa obutujju.
EBIKWATA KU MMUNDU
SAR 15T ENKOLA YA TURKEY
Emmundu eno, ekolebwa kkampuni ya Sarsılmaz Silah Sanayi A.S e Turkey era amagye ga Turkey gye gakozesa wabula n’ebitongole by’ebyokwerinda mu Ugnada byatandika okukozesa emmundu zino oluvannyuma lwa Gavumenti okukutula ddiiru ne Turkey okutandika okuguza Uganda ebyokulwanyisa.
Ensonda zaategeezezza nti emmundu eno erina ebintu emmundu endala bye zitalina omuli okuba ng’ewewuka okusinga endala nga n’atali mukugu mu ssabbaawa asobola okugikozesa, efulumya amasasi 650 buli ddakiika, ekuba mu buwanvu bwa mmita 400, esobola okukozesebwa ng’efulumya essasi limu limu oba okufulumya amasasi ng’efukirira mafukirire.
Okusinziira ku baakola emmundu eno, baagikoppa ku AK-47 eya Russia wabula eno, baagirongoosa era ya mulembe nnyo okusinga AK-47. 

Maneja Kaggwa gwe babbye.

Maneja Kaggwa gwe babbye.

EMMUNDU BAZISANZEEKO LAAMA ZA POLIISI
Bwe baamaze okufuna ssente, ababbi baalinnye pikipiki ze baabadde batambulirako okemmunduwabadde Bajaj Boxer UFV 988 N poliisi gye yabasuuzizza n’endala ne badduka kyokka omugagga Lubega yabadde ku kkampuni mu kaseera kano yakubidde poliisi y’e Kyotera n’ey’e Kyannamukaaka wamu ne Flying Squad ne batandika omuyiggo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka, Twaha Kasirye yagambye nti abaserikale baabwe baatandikiddewo omuyiggo ne bazingiza ababbi ku kyalo Kazigo mu ggombolola y’e Kyannamukaaka ne bakubako omu eyategeerekese nga ye Lawrence Ssenyumu amasasi agaamuttiddewo ate gwe yabadde naye ku pikipiki n’adduka n’ebisago eby’amaanyi.
Okusinziira ku nsonda mu poliisi, emmundu zino zaasangiddwaako laama za poliisi ekyaleese okulowooza nti osanga ababbi abatigomya abasuubuzi balina akakwate ku bitongole by’ebyokwerinda.
Kyokka Kasirye bwe yatuukiriddwa yagambye nti kituufu emmundu za poliisi kyokka bakyanoonyereza okuzuula engeri ababbi gye baazifuna ssaako okukwata abalala abana abadduse.
Yagasseeko nti ssente ze baabadde babbye badduse nazo kyokka baasobodde okubasuuza emmundu bbiri, pikipiki n’ebizibiti ebirala bye balowooza nti bigenda kubayamba okubatuusa ku badduse.


ENGERI AB’EMMUNDU GYE BATIGOMYA ABASUUBUZI E KYOTERA
Obunkenke bweyongedde mu basuubuzi naddala ab’emmwaanyi ne mobile money e Kyotera ne Kaliisizo olw’ababbi ababbisaokemmundu
ababalumba kumpi buli mwezi.
l Mu April, ab’emmundu baalumba ekyuma ky’emmwaanyi ku kyalo Nsambya okumpi n’e Kaliisizo ne bateeka abaasangibwawo ku mudumu gwa mmundu ne banyaga ssente zonna ze baasangawo.
l Abemmundu era, mu June omwaka oguwedde baalumba omusuubuzi Polinaali Ssemanda, nnannyini kyuma kya Zavuga Coffee Factory e Kaswa ne bamunyaga obukadde 150 nga yaakava mu bbanka.
l Mu July omwaka oguwedde, baalumba omusuubuzi wa mobile money Stella Kimbowa ne bakuba amasasi mu dduuka ne babba obukadde 30.
l Abemmundu era baalumba omusuubuzi John Ddamulira bwe yali mu mmotoka ye ng’ava e Kyotera mu bbanka okudda ku kyuma kye e Kaliisizo ne bamukuba amasasi agaabula katono okumutta ne bamunyaga obukadde 100.
l Nga June 1, 2023, abemmundu baalumba kkampuni ya Lwanga Moris Mobile Money Services Limited mu Town Council y’e Kaliisizo ne banyaga obukadde 178.
l Nga April 29, 2024, abemmundu abaali mu byambalo ebyefaananyiriza eby’amagye baalondoola bannaddiini mu kibiina kya Bannakaloori Brothers e Kiteredde bwe baali bagenda okuziikirako amyuka omukulu w’essomero lya Secret Heart Kiteredde mu bitundu by’e Wakiso ne babanyaga ebintu byonna bye baalina