PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump atadde ensi ku bunkenke, bw’alagidde lubbira za Amerika ezisitula bbomu za nyukiriya okugenda mu nfo we basobola okusinziira okukanyuga bbomu za nyukiriya mu Russia.
Trump Bw'afanana.
Embeera eno yavudde ku lutalo olw’ebigambo olubaddewo wakati wa Donald Trump n’eyali Pulezidenti wa Russia era amyuka Ssentebe w’akakiiko k’ebyokwerinda n’obutebenkevu mu Russia, Dmitry Medvedev, ng’entabwe eva ku Trump kwagala kuteeka puleesa ku Russia ekomye olutalo lw’e Ukraine.
Obutakkaanya wakati wa Trump ne Putin bw’atandika oluvannyuma lwa Putin okugaana okusirisa emmundu e Ukraine, kyokka nga Trump bwe yali alondebwa yasuubiza nti, olutalo luno ajja kuluyimiriza mu ssaawa 24 zokka.
Trump yasooka kwesiga Putin era nga boogera bulungi ku by’okuyimiriza olutalo, ne bategeka n’ensinsinkano eyali e Riyadh mu Saudi Arabia ne bongera okwogerezeganya. Wabula ekyatabula Trump kwe kuba nga Putin buli lwe baayogeranga n’asuubiza okusirisa emmundu, ate nga ayongeramu maanyi mu kusindika mizayiro mu Ukraine.
Lubbira Ya Amerika
Ekyavaamu, ye Trump okuwa Russia ennaku 50 ng’esirisizza emmundu oba si ekyo egenda kuyingira olutalo ng’eyita mu kuwa Ukraine emmundu enkambwe, n’obuyambi obulala esobole okwahhanga Russia.
Kyokka waayita ennaku ntono, wiiki ewedde Trump n’agamba nti, ennaku 50 azikendeezezza, n’awa Putin ennaku 12 zokka akomye olutalo, oba si ekyo amuteekeko natti enkambwe ez’ebyobusuubuzi, Russia mw’eggya ssente z’ekozesa mu lutalo.
Kino kye kyatabula Medvedev n’atandika okuwanyisiganya ebigambo ne Trump, wiiki yonna ewedde, paka bwe yatuuse n’agamba nti. Trump by’ayogera ne by’ateekateeka okukola tebiyamba kukomya lutalo, wabula byongera mafuta mu kulwana, ate bw’ateegendereza ne Amerika yandigabana ku muliro guno, okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Al-Jazeera.
Yatuuse n’okutiisatiisa nga Russia bw’ejja okuwalirizibwa okukozesa ku bbomu za nyukiriya, kubanga Trump alabika yeerabidde nti, Russia amaanyi erina mangi bwe kituuka ku bbomu zino nnamuzisa.
Bwe byatuuse awo Trump n’akimanya nti, ebintu si bya kusaaga, n’alagira lubbira za Amerika okugabana enfo ku mazzi, mu bitundu we basobolera okunyugunya bbomu za nyukiriya munda mu Russia, kubanga e Moscow balabika bye boogera babitegeeza.
Trump yagenze ku mukutu gwe ogwa Truth Social n’agamba nti, lubbira zino yaziragidde okwetegeka, olw’ebigambo Medvedev bye yayogedde, Trump bye yayise eby’ekisiru naye nga Russia erabika ebitegeeza.
Putin Bw'afaanana.
Okusinziira ku mukutu gwa BBC, ebigambo bya Medvedev Amerika ne Trump tebabitwala nga bya kusaaga, olw’enkolagana ey’amaanyi Putin gy’alina ne Medvedev, era nga kiteeberezebwa nti, Medvedev by’ayogera ne Putin abikkiririzaamu, sinnakindi nga y’amutuma okubyogera.
Kinnajjukirwa nti, Medvedev we yabeerera Pulezidenti wa Russia okuva 2008 okutuuka 2012, Putin ye yali Katikkiro we. Ate Putin bwe yakwata entebe mu 2012, Medvedev naye n’abeera Katikkiro we paka mu 2020.
Eggulo Russia yakoze olulumba sinziggu ku Ukraine mu kibuga Kyiv, n’esesebbula ebizimbe ebiwerako, n’okwonoona ebintu ebirala bingi. Obulumbaganyi buno we bujjidde nga Russia yaakamala okukola obulumbaganyi e Kyiv ku Lwokuna oluwedde, n’etta abantu 31 okuli n’abaana bataano, ate abalala 150 ne babuuka n’ebisago eby’amaanyi.
Ukraine nayo ku Lwomukaaga yasindise ennyonyi ezeevuga zokka ne zikuba omudumu gwa ggaasi ne gukwata omuliro, kw’ossa enfo Russia weebadde etereka ennyonyi za Iran ennwaanyi ze yabawa, mu kitundu ky’e Primorsko-Akhtarsk.