Ng'abaana batandise oluwummula lwabwe olwa ttaamu ey’okubiri, poliisi eyongedde okulabula abazadde okubakuuma ennyo.
Poliisi egamba nti mu biseera nga bino, emisango gy'okusobya ku baana abawala gitera okweyongera, okubatulugunya n'okubawa ebibonerezo ebikakali nakyo eky’obulabe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, alabudde abazadde okukomya okubikkirira emisango gy'okusobya ku baana nga bagimalira ebbali w'amateeka, ky'agambye nti kikyamu.
Mu ngeri y'emu era alabudde abantu okwewala okukozesa abaana emirimu gy'akasanvu egitagya mu myaka gyabwe ky'ayogeddeko nga nakyo ekimenya amateeka.
Abasabye okwewala okuyingiza abaana mu mize nga egy’ebimansulo, okubeewaza gguluupu, okwewala okubalagajjalira n'ebirala ebiyinza okuvaako okufiirwa obulamu bwabwe n'okutaataaganyizibwa obwongo.