POLIISI eyongedde okulabula abantu abalina obutakkaanya naddala mu by'ensimbi, okwewala okutwalira amateeka mu ngalo nga baggalira mu mayumba gaabwe abo be babanja.
Kino kiddiridde poliisi e Nsangi okukwata n'eggalira nnyini ssomero lya Pamville Primary School nga abazadde bamulumiriza, okulemera abaana babiri, abagambibwa nti baabadde bababanjibwa fiizi 1,500,000/-
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti enkola eno , egenda yeeyongera eri abantu ab'enjawulo, okutwalira amateeka mu ngalo ne basibira mu bifo ebitakkirizibwa abantu be babeera bavunaana, ky'agambye nti kirina okukomezebwa.
Akikkaatirizza nti guno guba musango era n'abawa amagezi ,okukwasa poliisi omuntu gwe babeera bafunye obutakkaanya naye.