Eyeeyita omukungu wa minisitule omusango gumumezze!

OMUSAJJA eyeeyita omusawo okuva mu minisitule y’Ebyobulamu n’afera abantu obukadde 36 asibiddwa emyaka 4 n’alagirwa n’okuliwa ssente ezo.

Eyeeyita omukungu wa minisitule omusango gumumezze!
By Edward Luyimbazi
Journalists @New Vision
#Amawulire #Musango #Minisitule #Mukungu

OMUSAJJA eyeeyita omusawo okuva mu minisitule y’Ebyobulamu n’afera abantu obukadde 36 asibiddwa emyaka 4 n’alagirwa n’okuliwa ssente ezo.

 

Robert Baluku 37, omutuuze w’e Mutungo mu Nakawa ye yasingiddwa emisango 2 egy’okufuna ssente mu lukujjukujju n’okweyita ky’atali. 

 

Yakwatibwa akakiiko akalondoola ebyobulamu mu maka g’Obwapulezidenti ka State House Health Monitoring Unit ng’abadde avunaanibwa mu maaso g’omulamuzi Frank Namanya e Nakawa.

 

Oludda oluwaabi lwaleeta obujulizi obukakasa nti Baluku yeeyita omusawo n’aggya ssente ku bantu ng’abasuubizza okubafunira emirimu.

 

Mu bajulizi kwaliko omusawo w’e Wakiso, Doreen Amullen eyagamba nti nga March, 2021 ne June, 2022, Baluku yamufera 18,500,000/- ng’asuubizza muganda we Joseph Achulokin omulimu.

 

Mu September, 2021 ne June, 2022 yafuna ssente 17,800,000/- okuva ku Simon Ojore ng’amusuubizza omulimu mu pulojekiti y’okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu minisitule y’ebyobulamu.