Essomero lya St. Mary’s College Kisubi eriddukanyizibwa Banaddiini b’ekibiina kya Brothers of Christian Instruction (abamanyiddwa ennyo nga Babbulaaza b’e Kisubi) likuzizza olunaku lw’Omuwolereza waalwo (Biikira Maria ey’atwalibwa mu Ggulu n’Omubiri gwe), era nelijaguza n’emyaka 120 bukya litandikibwawo Abaminsane ba White Fathers.
Kalidinaali Wamala mu katono n'ekizimbe kyebamubbuddemu
Omukolo gw’abadde ku ssomero lino e Kisubi (ku Liguudo lw’e Ntebe), ku Ssande nga August 17. Gw’atandise ne Mmisa eyakulembeddwa Omubaka wa Paapa, Ssabasumba Augustine Kasujja, ng’ali wamu n’omulyoyi w’emyoyo gy’abayizi mu ssomero lino Faaza Stephen Nkwangu, omumyuka we Fr. Achilles Ssewankambo ne Faaza Charles Mpiima.
Mu kitambiro kya mmisa kino, Ssabasumba Kasujja y’aweereddemu abayizi 37 Essakrametu lya Confirmansio, ate nakakasa abayizi abalala 58 abeeyatulidde.
Ng’ogumu kumikplo egy’okujaguza olunaku luno, abaddukanya essomero lino baatongozza ekizimbe ekirirwamu emmere ekipya, nebakibbulamu Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala ng’akabonero ak’okusiima emirimo emirungi gyeyakolera Klezia n’eggwanga.
Ekizimbe ekyabbuddwamu Kalidinaali Wamala ku St Mary Collage Kisubi
Omukulu w’essomero lino, Bro. Simon Simeon Mpanga y’annyonnyodde lwaki baakoze okusalawo kuno.
“Kalidinaali Wamala alina ebintu bingi byakkiririzaamu ate nga n’essomero lyaffe byerikkiririzamu. Mubukulembezeebwe y’akolerera nnyo eby’enjigiriza, emirembe, obwenkanya, n’okutumbula embeera z’abantu ate nga naffe wano empisa ennungi ezo zetugezaako okuyigiriza n’okuteeka mu bayizi baffe. Jajjaffe Kalidinaali tumwebaza nnyo olw’ebyo byonna by’akoledde Klezia n’eggwanga era tujjanga kubulabirako.”
Kalidinaali yeebazizza nnyo abaddukanya essomero lino olw’okumusiima nebammubulamu n;ekizimbe, n’ekigendererwa eky’okukuuma ekijjukizo kye.
Minista avunaanyizibwa kuby’Enjigiriza ebyawaggulu, Dr. John Chrysostom Muyingo y’asiimye abaddukanya essomero lino olw’okulikulaakalanya.
Akulira olukiiko olufuzi, Dr. Saturninus Kasozi Mulindwa, Ssentebo w’olukiiko olugatta abasomesa n’abazadde, Omulamuzi John Mike Musisi, Pulezidenti w’abaasomerako mu ssomero lino Roy Nyamutale, n’omukulembeze w’abayizi Peter Kigyagi nabo baawadde obubaka obw’okwebaza o’okweyama okwongera okutumbula omutndop gw’essomegro lino.
Abaana nga basanyusa abantu
EBIRALA EBYABADDEWO
Abantu ab’enjawulo abakoleredde essomero lino mu ngeri ey’enjawulo baasiimiddwa era nebaweebwa ebirabo. Kubano kw’abaddeko Omulamuzi Karooli Ssemogerere, Bro. Peter Kazzekulya, Mw. Lutaaya Alex Mukomazi, Omukulu Roy Nyamutale Baguma, Omulamuzi John Mike Musisi, Bro. Francis Mary Kiggundu, Fr Stephen Nkwangu, n’abalala.
Abayizi abaakola obulungi ennyo mubigezo bya Ssiniya ey’omukaaga nabo baasimiddwa era nebaweebwa akakadde k’ensimbi za Uganda 1 buli omu.
Omukolo gwetabiddwako ne Ssabasmba Paulo Ssemogerere, Bro. Jean Paul eyavudde e Roma, n’omumyuka wa Kaliisoliiso wa Gavumenti Dr. Patricia Achan Okiria.
Omukolo gw’atambulidde kumulamwa ogugamba nti: Kikolebwe nga Bw’oaygala (Matayo 6:10).