OMUSAWO w’e Nebbi agguddwako gwa kubba ddagala eribalirwamu obukadde obusoba mu 24.
Ronald Odyek omutuuze w’e Nebbi nga akola ku ddwaliro ly’e Nebbi ye yaleteddwa ab’akakiiko ka state house aka Health monitoring unit n’aggulwako omusango gw’okubba eddagala eribalirwamu obukadde 24 n’omusobyo wabula yagwegaanye.
Ono yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Asiimwe ku kkooti ewozesa obulyake n’obukenuzi e Wandegeya eyamusomedde omusango gw’obubbi.
Omusawo Odyek Bw'afaanana.
Kigambibwa nga August 30, 2021 ku ttundiro ly’eddagala eriyitibwa Imvepi mu disitulikiti y’e Madi-Kolo akakiiko k’ekitogole ky’ensi yonna ekiyamba abantu abali mu bwetaavu okukola okunoonyereza ne bakizuula nti Odyek yabba eddagala n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kujjanjaba nga bibalirirwamu obukadde 24 n’omusobyo.
Era empaaba ya kkooti eraga nti bino yabifuna okuva ku kitongole ky’ensi yonna ekiyamba abantu abali mu bwetaavu ng’ayita mu linnya ly’eddwaliro.
Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Getrude Nyipiri yategeezezza kkooti ng’okunoonyereza bwe kuwedde ne basaba obudde okuleeta abajulizi.
Omulamuzi Asiimwe yamusindise ku alimanda e Luzira okutuusa nga August 28 ,2025 lw’agenda okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa kwa Odyek.