OLUVANNYUMA lw'abatuuze be Kitintale zooni 11 mu gombolola ye Nakawa okulaajanira ebbanga nga bemulugunya ku bavubuka ababatigomya n'okubatulugunya mu matumbibudde nga bababba, bafunye ku buweerero olukiiko lw'ekyalo bwerusazeewo okubafuuza yonna gyebekweka bakwatibwe ne bazadde baabwe bagobebwe ku kyalo.
Bino bibadde mu lukiiko olwayitiddwa ssentebe w'ekyalo kino David Wasiye nga lwetabiddwako n'abakulembeze abalala mu kitundu.
Wasiye ategezezza nti bakooye abazadde abesuulirayo ogwanaggamba mu kugunjula abaana baabwe naddala abali wansi w'emyaka 18 nebatandika okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka omuli obubbi, okukozesa ebiragalalagala n’okusobya ku baana kyokka nga oluba okubagambako nga bazadde baabwe banyiiga.
Mmeeya Mugambwa ng'ayogera
‘’Singa tunasanga omwana w’omutaka nga yenyigira mu bumenyi bw’amateeka tugenda kumuvunaana ne muzaddewe abeera tafuddeyo kumulkunngamya ate singa omwana anabeera wa mupangisa tugenda kumugoba ku kyalo kyaffe’’ Wasiye bw’ategezezza.
Kyokka abamu ku batuuze bekokodde abamu ku bakulembeze n’abaagala obukulembeze okugendanga ku poliisi nebeyimrira abaana bano ababatulugunya nebateebwa olwo nebaddamu nebabatigomya.
Omutuuze Peter Safari, ategezezza nga abavubuka bano ababatigomya oluusi bwebataba ba mu kitundu nga balina bannabwe mu kitundu bebakolagana nabo nga bano bebabazigirira ebifo mwebanabbira.
Safari anokoddeyo ebifo nga Nalibaale road eva ku portbell road okudda ku kisaawe kya Mirambos, mu Nkere, ku Kabakanjagala n’ewakazibwako mu kiyembe.
Atwala eby’okwerinda mu muluka gwe Mutungo, Isa Tabalo ategezezza nga abavubuka bwebenyigira mu bubbi obw’ejawulo omuli n’okumenya amayumba g’abantu kyokka eky’ennaku bebamu ku bakulembeze abeyimirira abaana bano abakwatiddwa.
Ategezezza nga bwebakyagenda mu maaso n’ebikwekweto ku bavubuka bano nga n’abamu bakwatiddwa.
Asabye batuuze okutegeezanga ab’ebyokwerinda mu bwangu abo bonna bebaba bekengedde basobole okukolwako mu bwangu.
Mmeeya wa Nakawa Paul Mugambe atabukidde abantu abasirikira ababbi bano n’abategeeza nti kyebakola kikyamu kubanga nabo basobola okubalumba essaawa yonna.
Asabye abavubuka abenyigira mu bumenyi bw’amateeka bekube mu kifuba balongoose kubanga n’abamu ku bannabwe baavaayo nebetonda nebaleka omuze guno era nebawebwa entandikwa kati bali ku mirimu gyabwe bakola.
Ategezezza nga bwebagenda okuteekawo akakiiko okwongera okunoonyereza ku bumenyi bw’amateeka kubanga y’engeri yokka gyebasobola okutereeza ekitundu.
Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo e Kitintale Albert Okiti, asabye abantu bulijjo okuddukiranga gyebali babawe amawulire ku bumenyi bw’amateeka obw’engeri yonna kubanga baliwo kuyambagana