OMUBAKA wa Makindye West Allan Ssewanyana, ayongedde okweteekateeka okulaba nga yeddiza ekifo kino mu kalulu ka 2026
olukiiko lwa Allan olwalondeddwa
Ono wakati ng’akyalinda okulaba oba ekibiina kinaamuwa kaadi okuddamu okukikwatira beendera mu kalulu ka 2026, avuddeyo n’atongoza olukiiko nnnamutaayiika lwa bantu 500, olugenda okumusaggulira obuwagizi okwetoloola Makindye West nga lukulirwa Shafik Lubega.
Abamu ku balondeddwa ku lukiiko
Lubega ne banne balaze essuubi lye bakyalaina mu Ssewanyana, era ne beeyama nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bamutuusa ku buwanguzi.
Ssewanyan