AMAKAMPUNI ag’amaanyi gajjukiziddwa okwenyigira mu kukulaakulanya abantu be baweereza mu nkola y’okubakwasizaako mu ngeri eyeetagisa okukyusa obulamu bwabwe nga bayita mu kubalaga entambuza ya bizinensi oba okubawa ebibayambako okutambuza emirimu gyabwe obulungi.
Bino byakkaatiriziddwa Venkata Ramireddy akulira abasasaanya eby’okunywa bya Premier Distillers Limited mu bitundu by’e Mbale bwe yabadde ng'agabira abawanguzi abafunye ebirabo oluvannyuma lw’okunywa ebyokunywa ebikolebwa kkampuni eno.
Kkampuni ng’ejaguza okuweza emyaka 25, Ramireddy yakiikkatirizza nti baakugabira abantu abenjawulo ebirabo be batambudde nabo okumala emyaka 25, nga mu birabo ebigabibwa mulimu bboodaboda, tukutuku, ssente n’ebirala.
Mu kifaananyi , Venkata Ramireddy ng'akwasa omu ku bawanguzi pikipiki
Agamba nti abantu bwe bafuna ebidduka bino bibayambako okukulaakulanya emirimu gyabwe okuva ku ddaala erimu okudda ku ddaala eddala, bw'atyo n'akoowola amakampuni agamaanyi okufuba okukwatirako abantu ba wansi mu ngeri esobose kibasobozese okukulaakulanya emirimu gyabwe.
Abamu ku baweereddwa tukutuku kuliko Joy Namahonje eyaweereddwa tukutuku n'ategeeza nti kino kigenda kukyusa obulamu bwe mu mirimu gy'akola ng’atambuza ebirime okubijja mu nnimiro gy'alimira okutuusa mu butale obwenjawulo.
Agamba nti kino kyakukyusa obulamu bwe, famire ye nga kwossa n'abantu b'awangaala nabo, bw'atyo n'asaba amakampuni amalala okuyambako abantu be baweereza okusobola okwekulaakulanya.