Eyeeyimirira omutabani mu gwa Kayanja bamusindise mu kkomera

MAAMA aluguddemu, omutabani gwe yeeyimirira abuze poliisi n’emukwata n’asimbibwa mu kkooti ya Nateete-Lubaga e Mengo agibuulire wa gye yaddukira.Prossy Namugga yasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga September 5, 2025 nga bw’alindirira okuliwa obukadde 20 ezaali mu bukwakkulizo bw’akakalu ng’amweyimirira.

Namugga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MAAMA aluguddemu, omutabani gwe yeeyimirira abuze poliisi n’emukwata n’asimbibwa mu kkooti ya Nateete-Lubaga e Mengo agibuulire wa gye yaddukira.
Prossy Namugga yasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga September 5, 2025 nga bw’alindirira okuliwa obukadde 20 ezaali mu bukwakkulizo bw’akakalu ng’amweyimirira.
Kyaddiridde mutabani we, Moses Tumwiine omu ku bawawaabirwa mu musango gw’okulebula Paasita Kayanja okuba ng’amaze ekiseera ng’anoonyezebwa oluvannyuma lw’okubula, olwo nnyina n’akwatibwa ayogere gye yamuteeka ng’omuyima we.
Namugga wakati mu maziga yategeezezza nti, omwana okuva lwe yamweyimira taddangamu kumulabako nga n’essimu ze kati guweze omwaka ng’azikubako teziriiko.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya, yabuulidde kkooti nti, kati Namugga afuuse ng’abanjibwa kuba yalemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’omuyima n’asaba omulamuzi nti, bw’aba alemereddwa okusasula obukadde 20 ezaali mu bukwakkulizo, ono akaligibwe mu kkomera emyezi mukaaga (6). ng’etteeka bwe lirambika.
Omulamuzi Adams Byarugaba, bwe yamubuuzizza oba alina obukadde 20 ayimbulwe adde awaka, ate amaziga ne gamweyongera n’ategeeza nti, ye mukazi munaku atalina wadde ennusu ku lwayi nga bw’akukkulumira omutabani okubula n’amusuula mu mitawaana.
Oluvannyuma, omuwaabi wa Gavumenti yeemulugunyirizza kkooti ku batandise okutyoboola ekiragiro kyayo kye yayisa nga April 5, 2024 nti, tewabaawo muntu yenna akwata butambi bw’amaloboozi n’ebifaananyi ebitambula naddala nga waliwo omujuzi aba awa obujulizi mu musango gwa Paasita Kayanja.
Yanokoddeyo erinnya lya Elizabeth Nampiima gwe yagambye nti, mutaputa w’omusumba ow’amaanyi mu Kampala agufudde omugano gw’okukwata amaloboozi g’ebifa mu kkooti n’abizannya ku mukutu gwe ogwa TikTok oguli mu mannya ga Olivia Katema. Muwaganya yasabye kkooti ono alabulwe obutakiddamu.
Abawawaabirwa mwenda okuli; Reagan Ssentongo, Peter Sserugo, Alex Wakamala, Labeeb Kalifah, Moses Tumwine, Martin Kagolo, Agrey Kanene, Israel Wasswa ne Jamir Mwanda bavunaanibwa ogw’okulumba ekkanisa y’omusumba Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako nti, bamubanja ssente ze yabatuusizaako ebikolwa by’ekikukujju ekigambibwa nti, si kituufu.