Ab’e Kitintale balaajana lwa bavubuka ababatigomya

OLUVANNYUMA lw'abatuuze b’e Kitintale Zone 11 mu gombolola y’e Nakawa okulaajanira ebbanga ku bavubuka ababatigomya mu matumbibudde nga bababba, bafunye ku buweerero olukiiko lw'ekyalo bwe lusazeewo okubafuuza yonna gye beekweka bakwatibwe.

Meeya Mugambe ng’ayogerako eri abatuuze mu lukiiko lw’ekyalo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OLUVANNYUMA lw'abatuuze b’e Kitintale Zone 11 mu gombolola y’e Nakawa okulaajanira ebbanga ku bavubuka ababatigomya mu matumbibudde nga bababba, bafunye ku buweerero olukiiko lw'ekyalo bwe lusazeewo okubafuuza yonna gye beekweka bakwatibwe.
Olukiiko lwasazeewo ne bazadde b’abaana abo bagobebwe ku kyalo. Bino byabadde mu lukiiko olwayitiddwa ssentebe w'ekyalo kino David Wasiye nga lwetabiddwaamu n'abakulembeze abalala mu kitundu.
Wasiye yategeezezza nti bakooye abazadde abeesuulirayo ogwa nnaggamba mu kugunjula abaana naddala abali wansi w'emyaka 18 ne beenyigira mu bumenyi bw’amateeka omuli obubbi, okukozesa ebiragalalagala n’okusobya ku baana kyokka ng’olubagambako nga bazadde baabwe banyiiga. “Singa tunaasanga omwana w’omutaka nga yeenyigira mu bumenyi bw’amateeka, tugenda kumuvunaana ne muzadde we atafuddeeyo kumulung’amya ate singa anaaba wa mupangisa, tugenda kumugoba ku kyalo,’’ Wasiye bwe yategeezezza.
Kyokka abamu ku batuuze beekokkodde abamu ku bakulembeze olw’okugendanga ku poliisi ne beeyimrira abaana bano ababatulugunya. Peter Safari, yategeezezza ng’abavubuka bano oluusi bwe bataba ba mu kitundu nga balina bannaabwe be bakolagana nabo awalala nga bano be babazigirira ebifo mwe banabbira.
Yanokoddeyo ebifo nga Nalibaale Road eva ku Portbell Road okudda ku kisaawe kya Mirambos, mu Nkere, ku Kabakanjagala n’ewakazibwako mu kiyembe.
Atwala ebyokwerinda mu muluka gw’e Mutungo, Issa Tabalo yategeezezza ng’abavubuka bwe beenyigira mu bubbi obw’enjawulo omuli n’okumenya amayumba g’abantu. Yagambye nti bakyagenda mu maaso n’ebikwekweto ku bavubuka bano era nbamu baakwatiddwa. Yasabye abatuuze okutegeezanga abeebyokwerinda mu bwangu bonna be beekengedde.
Mmeeya wa Nakawa, Paul Mugambe atabukidde abantu abasirikira ababbi n’abategeeza nti kye bakola kikyamu kuba nabo basobola okubalumba essaawa yonna.