Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asiimiddwa olw'okulwanyisa mukenenya

Ssaabasajja Kabaka asiimiddwa olw'okulwanyisa mukenenya

Katikkiro nga bamukwasa engule ya Kabaka
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimiddwa olwa kaweefube w'okulwanyisa mukenenya mu Uganda gwawomyemu omutwe bukya alondebwa nga ambasada w’ekitongole ky’amawanga amagatte ekirwanyisa mukenenya mu 2018.

Abakola ogw'okunoonyereza nga balaga report mu Buganda n'ebitundu ebirala

Abakola ogw'okunoonyereza nga balaga report mu Buganda n'ebitundu ebirala

Ekitongole ekirwanyisa mukenenya mu Uganda nga kikulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko olufuzi Dr. Can. Ruth Senyonyi ng’ali wamu n’akulira emirimu Dr. Nelson Musoba ne bakwasa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ejjinja lya Kabaka ku mukolo ogubadde e Bulange-Mmengo enjuuyi zombi kweziddizza omukago obuggya.

Mayiga yeebazizza bano olw’okwebaza emirimu egikoleddwa Kabaka n’Obwakabaka okutwalira awamu bwatyo n’akunga abasajja okuvaayo mu maaanyi okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya.

Katikkiro Mayiga era asinzidde wano n’awa abawala amagezi, obutakkiriza kwegatta na basajja bebatamanyi obulamu bwaabwe webuyimiridde n’agamba nti kino kyakubayamba okwekuumira mu bulamu obulungi okusinga lwebanafuna siriimu nga bakkiriza okugenda na buli omu.

Dr. Senyonyi asinzidde wano n’asaba Obwakabaka okwongera amaanyi mu kubuulirira abantu okulaba ng’omuwendo gw’abaana abazaalibwa n’akawuka ka mukenenya gukendeera kubanga mu 2024 abaana 4700 baazaalibwa n’obulwadde buno, ekintu kyeyagambye nti kitiisa.

Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Coltilda Nakate Kikomeko yeyamye ku lw’Obwakabaka nga bwebagenda okufuba okulaba nga batuukiriza byonna ebiri mu ndagaano eno.

Dr.  Musoba awadde alipoota ku mukenenya n’alaga nti omuwendo gw'abantu abakwatibwa akawuka gukendedde; abeekebeza beyongedde, ate n'abanywa eddagala nabo beyongedde obungi mu ggwanga.

Omukolo gwetabiddwako Baminisita okuli Israel Kazibwe ow’amawulire, Noah Kiyimba owa Kabineeti n’Abagenyi n’abakungu okuva ku njuuyi zombi.

Katikkiro ng'ayogera

Katikkiro ng'ayogera

EBIBALO KU MUKENENYA NGA BWEBIYIMIRIDDE WAKATI 2020-2024:

Abantu 37,000 baakwatibwa mukenenya mu 2024. Kino nga kitegeeza nti abantu 711 beebakwatibwa obulwadde buno buli wiiki ate 101 buli lunaku.

Abantu 1,527,238 bebakakasibwa okubeera ne mukenenya  2024; Ku bano  930000 bakyala ate 570000,baami. Mu 2010 abaalina mukenenya baali 1,200,000.

2024 weyagwerako ng’abantu 1,300,000 be baali ku ddaggala lya mukenenya.

obulwadde bwa mukeneya buli ku bitundu 4.9 ku buli 100 mu 2024 wakati w’abantu abali mu myaka 15-49.

Abantu 20,000 be baava mu bulamu bw’ensi olw’endwadde ezeekuusa ku mukenenya.

Omwaka wegwatuukira wabaddewo okukendera kw’okukwatibwa kwa mukenenya kwa bitundu 57 ku 100 mu baana abali wakati w’emyaka 15-24. Mu 2010 abaalina mukenenya baali 33000 ate mu 2024, bali 14000.

Wakati wa 2020-2024, obulwadde buno buvudde ku bitundu 7.6 okutuuka ku 6.3 ku buli 100.

Disitulikiti y’e Kyotera yesinga okubeera obubi n’ebitundu 13 ku buli 100, Kalangala ebitundu 12 ku buli 100 ate Mukono ku bitundu 4 ku buli 100 ne Buvuma ku bitundu 5 ku buli 100, zezisinga obutabeera bantu abalina mukenenya