Abakungubazzi bazze mu bungi mu kuziika Ssaalongo Owere Macheke abadde yeesunga okugatibwa ne Nnaalongo Prossy Namirembe nga 30 omwezi ogujja ng'ono kigambibwa nti bamutemudde omulambo gwe ne gusulibwa mu Mabira Forest.
Abakungubazi nga bali mu kuziika omugenzi Ssaalongo Were

Abantu nga bakwatiridde Nnamwandu
Kigambibwa nti bweyatuuse e Mukono ne wabaawo amukubira essimu nga amwetaga naye Piki Piki ye n'ajirekera Makanika n'agenda okusisinkana eyabadde amuyise ekyazeeko kwekumusanga ng'atiddwa omulambo gwe ne gusangibwa mu Mabira e Najjembe.
Mukyala we Nnaalongo Prossy Namirembe atugambye nga bwabadde yesunga embagga yaabwe kubanga okwanjula kwali kwagwa naye ekisubizo kye kiganye olwa bbawe okumufaako.