Amawulire

Omukazi agambibwa okufumita bba ekiso n'amuleka ng'ataawa poliisi emuyigga!

Poliisi eyigga omukazi agambibwa okufumita bba ekiso, n'amuleka ng'ataawa, n'abulawo.

Omukazi agambibwa okufumita bba ekiso n'amuleka ng'ataawa poliisi emuyigga!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi eyigga omukazi agambibwa okufumita bba ekiso, n'amuleka ng'ataawa, n'abulawo.

Bibadde Busega mu munisipaali y'e Rubaga mu Kampala, omusajja ow'emyaka 29 ng'akola gwa kitunzi mu kkampuni ya Double Q  Sinotruk, bw'afumitiddwa ebiso ku mutwe ne bamuleka mu kitaba ky'omusaayi.

Kigambibwa nti bano bombi, bamaze emyaka 2 mu bufumbo nga balina n'omwana ow'emyezi Omwenda nga naye, omukazi yamusuddewo nga Jan 1 n'abulawo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti omukazi ono, ategeerekeseeko erya Joy , mu kiseera kino, yadduse era bamuyigga.

Ayongeddeko nti omusajja, atwaliddwa mu ddwaaliro e Rubaga , gy'ali mu kufunira obujjanjabi, ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kufumita
Kiso
Mukazi
Busega