Amawulire

OBWAKABAKA bwa Buganda buli mu kiyongobero olw'okuserera kw'abadde Ssabalangira wa Buganda, Godfrey Musanje Ngobe

OBWAKABAKA bwa Buganda buli mu kiyongobero olw'okuserera kw'abadde Ssabalangira wa Buganda, Godfrey Musanje Ngobe. 

Ssabalangira Musanje nga bwabadde afanana
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OBWAKABAKA bwa Buganda buli mu kiyongobero olw'okuserera kw'abadde Ssabalangira wa Buganda, Godfrey Musanje Ngobe. 

Ssabalangira Ngobe yavudde mu bulamu bwensi olunaku lwajjo oluvannyuma lw'okutawanyizibwa obulwadde okumala ebbanga. 

Omukubirizza w'Olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika mu Buganda, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba akungubagidde n'okwebaza  Ssabalangira  olw'emirimu emirimu gyasobodde okutuukiriza mu buvunanyizibwa Kabaka bweyamuwa. 

Ssabalangira Musanje Kati omugenzi era  y'abadde Omukulu w'Omutuba gwa Ngobe olumu kweezo eziva mu Ssekabaka Kikulwe. 
Yalondebwa ku bukulu nga Ssabalangira mu 2015 ng'adda mu bigere bya Ying. Moses Kayima naye eyali amazeeko ebbanga. 

Olw'eggulo lwa Leero, Omumyuka wa Ssabalangira atuuzizza Olukiiko n'Abakulu b'emituba okukola ku nteekateeka z'okutereka Omugenzi. 

Bataddewo akakiiko akagenda okukulirwa Augustine Musanje Ow'omutuba gwa Ggomotoka nga wakumyukibwa  Joseph Kimera Ow'omutuba gwa Ssezaluno ne Bammemba abalala nga bateseeza okutereka omugenzi kubeerewo ku Lwokuna mu makaage e Kasawo