Amawulire

Abazigu balumbye omuwala wa Tiktok ne bamutta e Kyanja

ABAZIGU abatannanyika, bayingiridde mwana muwala 'tiktoker' ow'emyaka 24 ne bamutuga ne bamutta oluvannyuma ne bakuliita n'ebimu ku bintu bye.

Abazigu balumbye omuwala wa Tiktok ne bamutta e Kyanja
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAZIGU abatannanyika bayingiridde mwana muwala 'tiktoker' ow'emyaka 24 ne bamutuga ne bamutta oluvannyuma ne bakuliita n'ebimu ku bintu bye.

Ettemu , libadde Kwaata zooni e Kyanja mu Kawempe division , bwe basse omuwala abadde amanyiddwa ennyo ku mitimbagano Diana Namulinde 24 , omulambo gwe ne baguleka mu buliri.

Ono, bamuttidde mu nnyumba gy'abadde apangisa mu kitundu ekyo era ng'omulambo, guzuuliddwa omu ku mikwano gye , abadde agenzeeyo okumulaba oluvannyuma lw'okuba ng'abadde tamuwuliza.

Poliisi ekutte omukuumi w'ekifo ekyo n'ebimu ku bintu ebigambibwa okubeera eby'omugenzi era ng'okunoonyereza , kugenda mu maaso.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti bakutte abantu basatu abagambibwa okubeera amabega w'ettemu lino nga ku bbo, babiri babayambako okunoonyereza