Amawulire

Amannya g’abantu omunaana abaafiiridde mu kabenje e Kassanda

AKABENJE ddekabusa akaagudde e Kassanda ne mufiiramu abantu munaana okuli n’abaana babiri, kaalese ebitundu bya Mubende ne Kassanda mu ntiisa ey’amaanyi, olw’engeri abaafudde gye baasogonyose.

Drone omwafiiridde abantu 8.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AKABENJE ddekabusa akaagudde e Kassanda ne mufiiramu abantu munaana okuli n’abaana babiri, kaalese ebitundu bya Mubende ne Kassanda mu ntiisa ey’amaanyi, olw’engeri abaafudde gye baasogonyose.
Akabenje kano kaagudde ku kyalo Nalutuntu, mu disitulikiti y’e Kassanda ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende ne Kasese ku Ssande akawungeezi.

Akabenje okugwaawo kyaddiridde bbaasi ya kkampuni ya Link nnamba UBE 535H okutomeregana ne takisi ekika kya Toyota Hiace eyakazibwako erya Drone, nnamba UBQ 154R.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Wamala,  LameckKigozi yagambye nti, akabenje kano okubaawo, ddereeva watakisi eyabadde avuga ng’ava e Kampala, yayambalidde bbaasi eyabadde edda e Kampala ne zitomeregana bwenyi ku bwenyi, nga Kigozi  agamba nti, kyandiba kyavudde ku nfuufu ey’amaanyi eyabadde ezibye ekkubo, kyokka ng’okunoonyereza kwo kukyagenda mu maaso okuzuulira ddala ekyavuddekoakabenje.
AMANNYA
Abaafudde kuliko; Richard Vumula 36, w’e Kasunganya mu disitulikiti y’e Bunyangabu,
Anita Nankya 34, w’e Rwini e Bunyangabu, Esther Katusiime 15 w’e Nsakasa e Bunyangabu, James Tusingwire w’e Bunjojo e Bunyangabu, Phiona Atuhire 39, w’e Bunyangabu, Janat Atugonza 40, w’e Bunyangabu, Ahura Rined 5, naye w’e Bunyangabu, kw’ossa Christine Kabaitalya 55 nga naye w’e Bunyangabu.
Abaafunye ebisago kuliko; Robert Muganzi 38, n’abasajja abalala babiri ng’amannya gaabwe tegannategeerekeka.
E LUWEERO BAASIMATTUSE
Poliisi y’e Luweero eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko kabenje akaagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Guluakaabaddemu bbaasi ya YY ku Lwomukaaga ekiro ne kaleka abantu musanvu nga banyiga biwundu.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah, Sam wineamazima, yagambye nti, akabenje kano kaagudde ku kyalo Kakinzi mu disitulikiti y’e Luweero omwabadde  baasi Isuzu nnamba UBF 807D, eya kkampuni ya YY.
Abaafunye ebisago bali mu kujjanjabibwa mu ddwaaliro ly’e Kasana- Luwero.