Amawulire

Abali ku gw’okutemula OC w’e Mukono baboogezza

ABASAJJA 3 abagambiwa okutta eyali atwala poliisi y’oku kyalo Ntaawo mu munisipaali e Mukono, ASP Emmanuel Bagenda balaze Poliisi engeri gye baaluka olukwe n’okubba gattako okutta omuserikale Poliisi baagisoosezza mu bitundu by’oku kyalo Lwanyonyi gye baatandikira misoni ne balaga amaduuka ge babba ne baleka abaayo nga bakaaba

Abakwate (mu ggiraavu) bwe baabadde nga baliko bye bannyonnyola poliisi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABASAJJA 3 abagambiwa okutta eyali atwala poliisi y’oku kyalo Ntaawo mu munisipaali e Mukono, ASP Emmanuel Bagenda balaze Poliisi engeri gye baaluka olukwe n’okubba gattako okutta omuserikale Poliisi baagisoosezza mu bitundu by’oku kyalo Lwanyonyi gye baatandikira misoni ne balaga amaduuka ge babba ne baleka abaayo nga bakaaba. Bano oluvannyuma baayolekedde ebitundu by’omu Kiwala gye babba ssente ku wa ‘Mobile Money’ ssaako n’ow’edduuka eyategeerekese nga Geofrey Kapulunyi gwe baakuba ne bamuleka ng’apooca n’ebiwundu.
Abakwate wakati mu bukuumi obw’amaanyi nga babasibye enjegere ku mikono n’amagulu okubaziyiza okudduka, baatutte poliisi gye baayita nga badduka okutuuka e Ntaawo gye baasanga Bagenda ne Kiyinji gwe baakuba ne bamuggyako n’emmundu ng’eno gye baakozesa okusaanyaawo obulamu bwa Bagenda.
Baabuulidde Poliisi ng’olukwe lwabwe bwe lwali olw’okubba obubbi ensimbi kyokka, tebaalina kigendererwa kya kutta OC Bagenda era nti, okuttibwa kwe, baakikola mu kwetaasa tekyali kya bugenderevu.
Baategeezezza nti, oluvannyuma baakozesa amakubo g’omu byalo ku pikipiki yaabwe ne badduka kiwalazzima ppaka lwe baagwa ku kkubo ly’e Ssonde ne baatuuka e Namugongo.
Omu ku baasimattuka okutirimbulwa olunaku luno Geofrey Kapulunyi omusuubuzi mu Kabuga k’omu Kiwala yakakasizza ng’ababbi bano bwe baamugwaako ekiyiifuyiifu ne bamunyagako ensimbi ze zonna ze yali akoze olunaku olwo ezali zikunukkiriza mu  kakadde, kyokka ne bagattako n’okumukuba obubi era nga yafuna ebisago ku ngalo, ne
mu mugongo.
 babbi bano kigambibwa okuba nti, ebadde nkola yaabwe okutuntuza n’okubba abantu  abawera mu bitundu by’e Mukono era nga balina bangi be basse n’abalala be balekedde ebisago eby’amaanyi. Bbo abatuuze baasiimye obukugu bwa poliisi bwe yakozesezza okukwata abantu  bano era ne basaba okulaba ng’abakwate
bavunaanibwa baweebwe ebibonerezo ebisaanidde, era baboogeze ne bannaabwe