Amawulire

Kkooti eragidde abeesenza ku ttaka ly’e Lubowa okuliwa

ABAPUNTA okuva ku disitulikiti y’e Wakiso bazzeemu okuggula empenda ku ttaka eririko enkaayana wakati w’Omusumba w’Abalokole n’abaana b’omugenzi Christopher Kaweesi.

Omusumba Ssebakijje (mu byeru) ku ttaka lye bakaayanira.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAPUNTA okuva ku disitulikiti y’e Wakiso bazzeemu okuggula empenda ku ttaka eririko enkaayana wakati w’Omusumba w’Abalokole n’abaana b’omugenzi Christopher Kaweesi.
Baagoberedde ekiragiro ky’omulamuzi Dr. Grace Flavia Lamuno owa Kkooti Enkulu e Wakiso eyalagira baddemu okupunta ettaka lino erisangibwa e Sseguku Katale - Busaawula nga liri ku Busiro Block 377 Plot 295 baggule empenda zaalyo era balambe we liyita.
Kino kyaddirira Omusumba Jeremiah Herbert Ssebakijje owa World Answers Church International okuwaabira Robert Kisa, Joseph Lukyamuzi, Noah Kiyimba, Dan Kasumba, Davis Sseremba, Shadia Namayanja ne Samuel Lule nti baanyoomoola ekiragiro kya kkooti ne bazimba ku ttaka lino n’okukubamu amakubo kyokka nga kkooti yali yabayimirizza okutuusa ng'omusango gumaze okusalwa.
Mu nsala ye eya nga January 19, 2026, Omulamuzi Lamuno yasingisa Kisa ne banne omusango gw’okunyoomoola ekiragiro kya kkooti ekyali kiragira obutabaako kintu kyonna kikolebwa ku ttaka lino.
Yabalagira okuliyirira Ssebakijje obukadde butaano n’obukadde obulala butaano eri kkooti olw’okunyoomoola ekiragiro kyayo era n’agamba nti ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza ebikolebwa ku ttaka lino kikyaliwo era balina n’okuddamu okupunta ettaka lino