MINISITA omubeezi ow’ettaka n’amayumba era omubaka omukyala akiikirira Namutumba mu Palamenti, Persis Namuganza alangiridde nga bw’agenda okuvuganya ku kifo ky’obwa sipiika bwa palamenti nga Talina kibiina mw’ajidde.

Minidita Persis Namuganza ng'ayanjula enteekateeka ze eri bannamawulire
Bino Namuganza abyogedde bw’abadde mu lukungaana lwa bannmawulire ku wofiisi ye mu Kampala mw’ategeerezza nti yesowoddeyo okuvuganya ku kifo kino olw’ensonga ezitali zimu nga muno mwemuli n’okuba nti palamenti ey’omulundi oguyise eswazizza nnyo abantu abaabalonda.
Anokoddeyo entalo ez’olutatadde ezizze zeyolekera mu palamenti eno nga kino kisiize ekifaananyi ekibi eri eggwanga n’ebweru walyo.

Minisita Namuganza ng'annyonnyola
Ayongeddeko nti mu kiseera kino yakafuna ababaka 150 abesowoddeyo okubeera emabega we era nga bano bamukakasizza nti bagenda kwongera okumufunira n’abalala babegatteko asobole okutuuka ku buwanguzi ku kifo kino.
Asabye bannansi okumuteekamu obwesige atuukirize ekirooto kye naddala nga amalawo omize omuli obulyake, obuli bw’enguzi n’ebirala.
Yemulugunyizza ku bamu ku bakulembeze banne abali mu buyinza aboolesa emize ekikyamu n’ategeeza nti bano balina okweddako.