Amawulire

Ebigezo bya Senior 4 bikomyewo Minisita Janet Kataha Museveni n'atangaaza ku kaliculaamu empya

EKITONGOLE ekibaga n’okugolola ebigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board (UNEB) kifulumizza ebyavudde mu bigezo bya UCE eby’omwaka 2025  

Minisita Janet Kataha Museveni ng'alaga ebivudde mu bigezo bya Senior 4
By: Sharon Nabasirye, Journalists @New Vision

EKITONGOLE ekibaga n’okugolola ebigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board (UNEB) kifulumizza ebyavudde mu bigezo bya UCE eby’omwaka 2025.

Omukolo gw’okubifulumya gubadde mu maka g’obwa pulezidenti e Nakasero nga minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni yabadde omugenyi omukulu .

 Minisita Katah Musevni nga bamukwasa ebyavudde mu bigezo bya Senior 4

Minisita Katah Musevni nga bamukwasa ebyavudde mu bigezo bya Senior 4

Ssentebe wa UNEB  Prof. Celestino Obua ategeezezza nga abayizi abaatuula ebibuuzo bya UCE  omwaka oguwedde bwe beeyongedde n’ebitundu 20 ku buli 100 nga abangi ku bano bayise era nga bakweyongerayo n’emisomo gyabwe mu siniya 5  n’amatendekero g’ebyemikono okusinga kwabo abatuula mu 2024 .

Dayirekita wa UNEB Dan Odong ayanjudde  ebivudde mu bigezo bya UCE ebyatuulwa omwaka oguwedde nategeeza nti abayizi 432,163 bebeewandiisa ate bbo ababituula baali  429,949  .

Ku bano abayizi 204,292 baali balenzi ate 227,871  bali bawala . Agamba abalina obulemu baali 708 n'abasibe 52.

Mu bibuuzo ebyakolebwa , essomo ly'olulimi oluzungu , eddiini , kalojja nsi ( geography) bye byasinze okukolebwa obulungi   wadde ng’ate amasomo okuli ery’ebyafaayo (history) n’eryekuusa ku bukulembeze (political education ) gegasinze okukolebwa obubi .

Minisita Katan Museveni nga bamukwasa ebivudde mu bigezo bya Senior 4

Minisita Katan Museveni nga bamukwasa ebivudde mu bigezo bya Senior 4

Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu Dr. JC Muyingo  akuutidde  abakulira n’abaddukanya ebyenjigiriza mu masomero okuwangayo abayizi akadde okukola ku pulojekiti zaabwe wamu n’obudde obuwummula kuba ebisomesebwa bino ebiggya bifa nnyo ngeri omuyizi  gyasobola okussa amagezi agamusomesebwa mu nkola okusinga okukwata obukusu ebimusomeseddwa .

Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni atangaazizza ku nkola y’okulamula empita y’abayizi nga abaayitiranga mu ddaala (grade)erisooka eryokubiri oba eddala nti enkola eyo yavaawo nga abayizi kati bonna balamulwa okusinziira ku ssomo ly’ebayise so si ddaala  era nagamba nti buli muyizi atuukiriza obukwakulizo bw’okuyita omutendera guno afuna result 1 era ono afuna satifukeeti ya UNEB , ekitali ku balala abagwa mu kkowelya  result 2 ne 3 .