Bya Aidah Nakazzi
Kiki ekiteekeddwa okukolebwa ssaako n'ebyo ebikuumidde amawanga ga Africa emabega by'ebimu ku nsonga enkulu eziri mu kuteesebwako mu lukungaaana lw'amawanga ga Africa olugenda mu maaso mu kibuga Addis Ababa.
Uganda y'ekulembeddemu enteekateeka eno era nga omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga Jesca Alupo yaakiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Pulezidenti Museveni yeeyamye okuwaayo akakadde ka Dollar kalamba kasobole okuyambako mu kutambuza omukago guno okumamla ebbanga lya emyaka ebiri.
Mu nsisinkano eno yeermu, Pulezidenti Museveni yeeyamye okukulembera omukago guno ssaako n'obuvunanyizibwa obumuweereddwa okuva ku pulezidenti wa Algeria abaddeko akiikiriddwa ssaabaminisita Sifi Ghrieb...
Mu bigambo bye pulezidenti Museveni akubirizza abantu bonna bekikwatako okkolera awamu basobola okutuukiriza omulamwa gw'omukago guno.
Museveni anokoddeyo ebintu bisatu ebirina okussibwako essira omuli okkusa mu nkola ebyo ebiba bisaliddwawo, okussa essira mu kusomesa engeri gyebasobola okwangangamu ebizibu by'obukulembeze ssaako n'okuvujjirira emirimu gy'omukago guno.
Abamu ku babadde mu mitambo gy'omukago ekisanja ekiwedde, bategeezezza nga Uganda bweri enneetegefu okutambuza obulungi omukago guno naddala mu kiseera kino ekyakazigizi.
Abakulembeze abeetabye mu lukung'aana luno bategeezezza nti eky'okuwa Pulezidenti Museveni okutambuza omukago guno kyongede okulaga obwesige amawanga ga Sfrica bwegalina mu Uganda ssaako n'okunyweza eddoboozi lya Africa aryawamu.
Kino ekikoleddwa kiraga obwesige ssaako n'obuvunanyizibwa uganda bwerina mu kutambuza omukago guno.
Nga amawanga ga Africa gali munteekateeka n'okufuna enkulaakulana ey'omuggundu mu 2063, omukago guno gugenda kukola ng'omuzadde w'obukulembeze okuva mu bantu ab'enjawulo, ssaako n'okugoberera ebikolebwa okusobola okufuna ebibala ebirungi.
Uganda obuvunaanyizibwa bwayo, kussa mu nkola ebyo byonna ebiba bikkanyiziddwako, enkyukakyka mu bukulembeze evaamu ebibala ebirungi ssaako n'okukysa embeera za bantu mu Africa