Amawulire

Munnamawulire wa Nbs tv afiiridde mu kabenje akagudde e Kiruhura ne mufiiramu abantu munaana

Abantu 8 baafiiridde mu kabenje akagudde e Kiruhura n'omulala omu n'aweebwa ekitanda ng'ali mu mbeera mbi.   

Munnamawulire wa Nbs TV Julius Kitone eyafiiridde mu kabenje
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu 8 baafiiridde mu kabenje akagudde e Kiruhura n'omulala omu n'aweebwa ekitanda ng'ali mu mbeera mbi. 

A kabenje Kabadde Kibega 1 ku luguudo oluva e Lyantonde okudda e Mbarara takisi nnamba UBQ 016U bw'etomereganye ne lukululana nnamba KDQ 668L/ ZH 5133 Benz Actros. 

Bonna abafudde, babadde basaabaze mu takisi era ng'ebadde eve Mbarara ate nga lukululana eva Lyantonde. 

Kitegeezeddwa nti owa takisi abadde agezaako okuyisiza mu kkoona kwe kusangayo lukululana, ne bambalagana bwenyi abantu 8 ne bafa.

Omwogezi wa poliisi e Rwizi Samson Kasasira, agambye nti  emirambo gy'abantu bana, gibadde gikyawagamidde mu bipampagalu by'emmotoka nga bakola butaweera okugitemamu.