Amawulire

Pulezidenti Museveni alagidde abakulembeze ba NRM ku mitendera egy'enjawulo okubeera abasaale mu kubunia ejiri y'enkola za Gv't

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde bassentebe ba NRM ku mutendera gwa district okukulemberamu olutabaalo lw'okubunyisa enjiri ya Program za Gavument ez'okuggya abantu mu bwabu. 

Abakulembeze ba NR ku mitendera egy'enjawulo nga bali mu state House
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Aidah Nakazzi

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde bassentebe ba NRM ku mutendera gwa district okukulemberamu olutabaalo lw'okubunyisa enjiri ya Program za Gavument ez'okuggya abantu mu bwabu. 

Pulezidenti ategeezezza nt  kati omulimu omukulu obukulembeze bwa NRM gwebusigazza kwekulwanyisa obwavu mu maka

Pulezidenti Museveni ayozaayozezza abakulembeze ba NRM abaalondeddwa ku mutendera gwa District wamu n'okubeebaza buli omu alina kyeyakola mu kampeyini ezaakomyawo Museveni ku bwa Pulezidenti bwa Uganda, era kano akalulu Pulezidenti Museveni akageraageranyizza ku 1996 bwategeezezza nti kekamu ku kalulu kebaasinze okunoonya nga bali bumu.

Museveni ategeezezza nti eggwanga lirimu emirembe eribadde teribangawo mu myaka egyayita. okwogera bino yabadde akyazizza bassentebe ba District, Municipality, ne bassentebe ba NRM mu bibuga era ng'esisinkano eno yabadde mu state House.