Amawulire

Klezia ekuzizza olunaku lw'abaagalana

Abasaserdooti bulijjo bazze bannyonnyola nti Olunaku lwa Valentine, oba olw’abaagalana, lwa Klezia Katolika, wabula nga lwawambibwa abadigize, nerulabika nga olwabwe. Bagamba nti kulunaku luno, Klezia Katolika kwejjuukirira Omutuukiruvu Valentino, Omusaserdooti Omuyitale, eyattibwa ng’omujulizi mu kyasa 3, bweyajeemera ekiragiro kya  Kabaka Claudio eky’abavubuka abali mu magye obutawasa (basobole okuba abalwanyi abalungi, ye n’agenda mu maaso n’okubagatta n’ababeezi baabwe mu kyama.

Bannaddiini ne ba faaza nga bajaguza olunaku lw'abaagalana
By: Mathias Mazinga, Journalists @New Vision

Abasaserdooti bulijjo bazze bannyonnyola nti Olunaku lwa Valentine, oba olw’abaagalana, lwa Klezia Katolika, wabula nga lwawambibwa abadigize, nerulabika nga olwabwe. Bagamba nti kulunaku luno, Klezia Katolika kwejjuukirira Omutuukiruvu Valentino, Omusaserdooti Omuyitale, eyattibwa ng’omujulizi mu kyasa 3, bweyajeemera ekiragiro kya  Kabaka Claudio eky’abavubuka abali mu magye obutawasa (basobole okuba abalwanyi abalungi, ye n’agenda mu maaso n’okubagatta n’ababeezi baabwe mu kyama.

Olunaku lw'abaagala

Olunaku lw'abaagala

Bw’otegeera ennyinnyonnyola eno, oba toyinza kwewuunya lwaki abadigize bwebaabadde babinuka ngabajaguza olunaku lw’abaagalana mu mabaala, zibbiici n’amawooteeri, Klezia Katolika nayo y’abadde ejaguza olunaku luno n’Abakristu baayo.

Omukolo omukulu gw’abadde ku kigo ky’e Nsambya, nga gw’ategekeddwa aba Holy Cross Family Ministries. Gw’atandise ne mmisa eyayimbiddwa Fr. Denis Lule, ey’asabye abafumbo okunyweza ebiragaano byebaakuba bwebaali bagattibwa. Y’abakubirizza bulijjo okuzza obujja omukwano gwabwe, okuwuliziganya, okubeeragana, okugumiikiriziganya, okusonyiwagana, n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka. Ono y’atuuse n’okuyimba oluyimba lwa Bobi Wine, olwa Adam ne Kawa, okusobola okuggusa obulungi obubaka bwe,

Bannaddiina nga basala cake

Bannaddiina nga basala cake

Fr. Lule y’abadde ne Basaserdooti banne, okwabadde Diyirekita wa Holy Cross Family Ministries, Fr. John Baptist Nsubuga, ne Fr. John Baptist Ssemaganda, nabo abaawadde abafumbo, n’abaagalana, obubaka obulungi.

Abasaserdooti baasabidde abafumbo, Abakristu abatannatukuza bufumbo bwabwe, abavubuka abanoonya ababeezi, n’abafumbo abaafiirwa ababeezi baabwe.

Omukolo guno gwabaddemu n’ebisanyusa, nga abafumbo okwegabira ebirabo, okuwa obujulizi, okulonda abaagalana abasinze okwambala obulungi, n’amazina. Kkwaya y’abavubuka okuva mu kigo ky;e Kkonge-Lukuli yeyakulembeddemu okuyimba mu mmisa, ate bbandi ya Triads n’esanyusa abaagalana bwebaabadde balya n’okunywa