AKULIRA abalamuzi ba Uganda, Omulamuzi Pamella Lamunu Ocaya afalaasidde bannamateeka okwewala zi ddiiru ze bakola okufuna ssente ez'amangu n'agamba nti anaakikola ekkomera limulinze.
Yabyogeredde ku kkooti enkulu mu Kampala mu maaso ga bannamateeka 116 abaawereddwa ssatifikeeti z'okutandika okuwoleza mu kkooti enkulu n'abasaba okukomyawo ekitiibwa kya Balooya ekibadde kiseebengerera.
Lamunu, yabasabye okwesigama ku mateeka okuwolereza abantu era n'okwongera okusoma okubanguka okusingako awo.
Yabawadde empapula zaabwe n'abasindika mu kisaawe okukola ssente kyokka n'abasaba okwewala ssente z'amangu eziyinza okubaleetera akabasa. Ono era yabasabye n'okuwolereza abatalina ssente era n'obutanyooma bantu.
Ku ky'ennyambala, Lamunu yagambye nti bateekeddwa okwambala mu ngeri eweesa ekitiibwa kyokka era n'okumanya ekifo we bambalira ebyo sso ssi nti ne mukatale okugula ebintu bambale ssuuti okukakasa abantu nga bwe baasomye amateeka.
Yeebazizza abazadde olw'okwefiiriza okuweerera bannamateeka bano n'abasaba okugira nga bababudamizzaako okutuusa nga bafunye emirimu. Yakyukidde bannamateeka bano n'abasaba obutagyako bazadde baabwe ssente nga babalambika mu by'amateeka.
Amyuka Pulezidenti w'ekibiina ekitaba bannamateeka, Anthony Asiimwe, yasabye abaatikkiddwa okwongerako ebitabo ssaako okunoonyereza kuba amateeka gakyuka enkya n'eggulo nga kiswaza Looya okugenda mu kkooti ne yeesigama ku mateeka agakyusibwa edda.
Yayongedde n'abakuutira okwesigama ku mateeka nga bawolereza abantu ssaako obutamenya bwesigwa babwe n'abantu kuba be babawa emirimu.
Asiimwe era yabafalaasidde okuleka omukululo gwe banajjukirirwako era n'okubeera n'ebirooto ebyamaanyi singa baakwogerwako nga Balooya abaaliwo kwossa n'okwewa ekitiibwa.