GAVUMENTI ya Egypt aggyewo visa eri abakungu bagavumenti n'abakulira ebitongole eby'enjawulo abagendayo.
Mu ngeri y'emu era, n'aba United Arab Emirates { UAE }, nabo bakoze ekintu ky'ekimu eri abakungu baffe abayingirayo wamu n'abantu baabwe abajja kuno.
Okwawukanako ne Egypt , Uganda ekkirizza bannansi okuva UAE n'abakungu okuyingira wano nga tebalina visa so ng'ate Bannayuganda ababulijjo, bbo balina kufa Visa okugendayo.
Omwogezi wa minisitule y'ensonga ezomunda mu ggwanga ,Simon Mundeyi agambye nti enkola eno, yatandise nga Jan 17 omwaka guno mu Egypt so ng'ate mu UAE baatandise Feb 10.