Amawulire

Gen. Nalweyiso alabudde bannayuganda ku bannakigwanyizi abakozesa obubi erinnya lya Pulezidenti Museveni

OMUWABUZI wa Pulezidenti ku nsonga z'ebyokwerinda Gen Proscovia Nalweyiso alabudde Bannabyabufuzi bonna abegwanyiza ebifo mu gavumenti okwewala bannakigwanyizi  abeeyita abakozi ba Pulezidenti Museveni nga babasuubiza okubafunila ebifo mu kisanja kino ekipya.   

Gen. Nalweyiso ng'ali ku pulogulaamu mugobansonga ne Ronald Ssebutiko
By: David Lukiiza, Journalists @New Vision

OMUWABUZI wa Pulezidenti ku nsonga z'ebyokwerinda Gen Proscovia Nalweyiso alabudde Bannabyabufuzi bonna abegwanyiza ebifo mu gavumenti okwewala bannakigwanyizi  abeeyita abakozi ba Pulezidenti Museveni nga babasuubiza okubafunila ebifo mu kisanja kino ekipya.

Gen. Nalweyiso ng'ali ku Bukedde fm mu pulogulaamu mugobansonga

Gen. Nalweyiso ng'ali ku Bukedde fm mu pulogulaamu mugobansonga

Gen. Nalweyiso agamba nti bano beenonyeza byabwe kubanga Presidenti Museveni teyetaaga kumulabira bantu banaakola nabo kubanga ye alina obukugu ku bantu abo baalonda mu bifo ebyenjawulo.
“Njagala okukozesa omukisa guno okulabula bannayuganda mwena nti towa muntu yenna sente nga akusubizza okukutwala ew'omulukulembeze w'egwanga oba okukufunila ekifo mu gavumenti eno empya,”
Nalweyiso bino yabyogeredde  Ku pulogulamu ya mugobansonga ku bukedde FM olwokuna nga feb 26 2026.
Ayongedde okulabula bannakigwanyizi bano nti singa omuntu yenna anakwatibwa wakusimbibwa mu mbizi ekogga amateeka gamulamule.

Omuteesiteesi wa Pulogulaamu mugobansonga ne Ronald ssebutiko

Omuteesiteesi wa Pulogulaamu mugobansonga ne Ronald ssebutiko

Okusinziira ku ttemu erikyase ennyo ensagi zino mu ggwanga, Nalweyiso akubilizza bannayuganda okwongera okufaayo ennyo ku nsonga y'ebyokwelinda naddala mu bitundu gy'ebawangalira.
“Ffe ng’abebyokwelinda tukola ekisoboka okulaba nga obumenyi bwamateeka tubulinya ku nfeete naye ate tetuyinza kubeera mu buli kifo n’olwekyo kirungi singa fenna tukolera wamu okulaba nga tukuuma emirembe mugwanga lyaffe.